KampalaBya SSENNABULYA BAAGALAYINA
EBYALO ebikola Lukaya Town Council bya nkalajje, ettaka lyetabuddemu olunnyu, enjazi n’omusenyu ekitabibeerera byangu kuddako bitooke.
Eggombolola ya Lukaya eriraanye ennyanja Nalubaale, y’ensonga lwaki ekitundu ekisinga kya musenyu. Era bangi eby’okulima ensuku baabyenenya nga bagamba nti ettaka eryabwe tekuddako bitooke.
Wabula Gerevazio Mukasa Kaliika, sipiika w’olukiiko lwa Lukaya Towun Council ye ku ttaka lino kw’alima ensuku.
Bamuzaala Mwota, gye yava okugenda mu Seminario. Olwava eyo n’agenda e Swedene, gye yakuba ekyeyo kyokka mikwano gye ne bamubba ekyamuwaliriza okukomawo mu Kampala.
“Nga ndi mu Kampala nnalaba ng’okwekuyengera mu kibuga n’abaana nga siibisobole kwe kujjukira obukugu mu byobulimi obwatusomesebwanga mu Seminario. Kwe kusalawo okukomawo e Lukaya mu 2001,” Mukasa bw’attottola.
TERI TTAKA BBI
Ku ttaka lino ‘ebbi’ kwe yatandikira n’ekigendererwa ky’okulifuula ery’omugaso. “Abantu nalaba nga beemalidde ku kuluka biwempe. Mu kifo ky’ebitooke nga basimba kayinja.
Nnalina ente Eng’anda ssatu ne nfunirako sseddume enzungu eyampeebwa aba World Vision eyannyamba okukyusa omusaayi okufunamu maleeto, nneewola ebitooke bya Mpologoma endu 50.
Abakugu baanoonyereza ku ttaka ne bakizuula ng’ebitooke bya FHIA biddako bulungi naddala ekika kya FHIA 17/23 ekisobola okwesakira emmere n’okugyeterekera.
Mu mwaka gumu obeera otandise okulya, kisaako ettooke ery’ebiwagu okuva ku 17 n’okutuuka ku 23 era mu myezi esatu obeera olya. Osobola okulirya akatogo oba amenvu.
Nnasimba ebitooke 100 era kwe nnasomeseza abatuuze bw’e Mwota omugaso oguli mu ttaka lyabwe n’ebitooke bya FHIA.
Buli ajja okumuguza ekiwagu ekya 500 muweerako n’endu nga ssatu ku bwereere asimbe okutuusa ekyalo kyonna bwe kibunye FHIA gwe bakyusizza erinnya ne bakituuma erya ‘Kaliika.
ETTAKA LYA BBEEYI
FHIA ampeesa obululu bungi okubakiirira ku Lukaya Town Council era ku Mwota ebibanja byakwo byagulwanga ndola okuva ku mutwalo ogumu okutuuka ku 120,000/-naye kati byalinnya ebbeeyi lwa Mpologoma ne FHIA.
Omuwendo gw’abatuuze abaali bakeera okujja ewange okubaguza emmere buli olukya gwesalako,ente zange zeeyongerako kw’ogatta embizzi. Bino mwe nzigya ebigimusa okukyusakyusa ettaka. Kati mbakannye na muwogo kwe ngasse obutundan’okulunda enjuki.
Sikyakaluubirirwa mu fiizi z’amasomero ate n’emmere gye ndya tembulangako. E Namung’ona mu Kampala nninayo amaka kyokka nnabirekayo ne nsalawo okudda eka nnunnule ekitundu’.