breaking news
Ebyobulimi
Ab’e Lubaga babasomesa kulunda byennyanja
  • Jan 30, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Karamata ng’asomesa abalunzi.

Kampala

Bya Procopios Lumu

EGGOMBOLOLA y’e Lubaga etegese omusomo gw’okulunda ebyennyanja mu kifo ekifunda ng’omu ku kaweefube waayo okulwanyisa obwavu.

Omusomo guno gwabadde ku ttendekero ly’ebyemikono e Kabuusu wansi w’omulamwa gy’okufuna amagoba amangi mu nnima n’ennunda eyomulembe.

Kkampuni ya Crest Tank ekola ttanka z’amazzi y’ewomye omutwe mu kaweefube ono eyeetabiddwaamu abalunzi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo omuli Katosi, Kiboga, Kampala n’awalala.

Abasomesezza ye omukulu w’etendekero lwa InterprenueshipInsistute of Technology n’omusawo okuva mu kitongole ky’ebyenyanja mu ggwanga.

Yo kampuni ya Crest Tank yeeyamye okusala ku miwendo gya buli mulunzi wa byennyanja aneewandiisa mubyangu ebitundu kumi ku buli kikumi.

George Muramata, akwanaganya ebyobulimi mu ggombolola y’e Lubaga ate nga mulunzi wa byennyanja yagambye nti buli kibiina ky’abalimi kisasula 120,000/- eza buli mwaka.

Okulunda kw’ebyennyanja kuno kuyitibwa ‘Aquaponics’. Mu kino olunda ebyennyanja ate nga bw’olima enva endiirwa.

Ebyennyanja obissa mu ttanka oba firiigi enkadde. Oyiwamu amazzi n’ossaamu ebyennyanja olwo ng’otandika kubiwa mmere.

Amazzi amajama g’oggyamu nga gayita mu payipo ogassa mu nva ndiirwa. Ofuba okulaba ng’akalimiro ko okateeka kumpi ne ttanka y’ebyennyanja.

  • Jan 30, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola