
RDC Ssemwanga ng’ayogera ku mukolo.
KampalaBya Ssennabulya Baagalayina
BANNABIBIINA ebivuganya Gavumenti mu Kalungu n’aba NRM bassizza kimu ku myaka 26 bukya NRM ekwata nkasi nti bo nga Bannakalungu bagiganyuddwamu ebintu bingi.
Bo aba DP baawukanye ku bannaabwe abeetaba mu nkola y’okutambuza ebigere eya ‘Walk to Work’ ne babagugumbula n’abagiwomyemu omutwe nti tebazimba ggwanga okuggyako okulibbika.
Wano we baawabulidde ab’akakundi ka A4C nti bagwanidde okukimanya nti obuzibu bwa Uganda si Museveni ng’omuntu wazira abacaamu beebo abakwasibwa ssente bazituuse ku bantu baabulijjo ne batakikola.
Bino aba DP abaakulembeddwa Sipiika wa Disitulikiti Raphael Kisekka, Meeya wa Kalungu Town Council John Kiragga, kansala Med Bukenya be baabitegeezezza ne bagamba nti bubadde bukulembeze bwa NRM obubatuusizza mu bifo bye balimu.
Bino baabyogeredde ku bikujjuko by’okukuza emyaka 26 egya NRM mu kisaawe ky’essomero lya Kalungu GTC egyakuliddwa Col. Joseph Ssemwanga n’abakulu abalala okwabadde RDC, Tom Ssemwanga.