Ssenga nnina ekizibu. Mpulira nga sikyalina maanyi ga kisajja bulungi nga ge nnasooka okubeera nago. Ng’enze ku basawo abeeranga nti bagaba eddagala erizzaamu amaanyi g’ekisajja naye sirinaawo njawulo era mukazi wange naye agamba sikyamumatiza. Nkole ntya?
Mwana wange, abasawo abeeranga nti bazzaamu amaanyi g’ekisajja abasing babeera bafere era baveeko. Ogambye nti amaanyi g’olina gakendedde kyokka mu kusooka nga walina mangi.
Kino kibaawo buli lwe weeyongera okukula. Tombuulidde myaka gyo naye omusajja gy’agenda ng’akula, amaanyi gakendeera olw’ensonga eziwerako.
Oyinza okuba ng’okola nnyo kale ogenda okutuuka mu buliri nga tokyamalako bulungi. Oyinza okuba nga obwongo bwo obukozesa nnyo mu kulowooza.
Ebirowoozo bibuza amaanyi. Okumatiza mukazi wo, fuba okulaba nga bwe muba munaanyumya akaboozi, obwongo bwo obuteeka ku kye mugendako ate sooka omunoonye bulungi.
Onoogenda okumuyingira ng’ayidde era ajja kumatira ne bw’onooba toluddeewo nga munyumya
akaboozi.