
Omwala gw’e Nakivubo nga bwe gufaanana.
KampalaBya Martin Ndijjo
KAMPALA, ekibuga ky’eggwanga ekikulu kitutte ebbanga nga kibuutikiddwa obujama nga busibuka ku kumala gamansa kasasiro.
Embeera eno evuddeko ekibuga okusigala nga kicuuma mu bifo ebisinga era nga n’ebimu tebiyitikamu naddala buli enkuba lw’etonnya.
Yadde nga buvunaanyizibwa bwa buli muntu akolera n’okusula mu Kampala okukuuma obuyonjo, bangi beesuuliddeyo gwa nnaggamba ku nsonga eno.
Olw’obujama obususse mu bitundu ebimu kino kivuddeko endwadde nga kkolera n’endala okubalukawo.
Buli nkuba lw’etonnya, ebisaaniiko byonna n’obucupa bw’amazzi biggweera mu myala ekigivaako okuzibikira ne kiremesa amazzi okutambula.
Embeera eno era y’evuddeko amataba mu bitundu bya Kampala ebimu nga Bwaise, Nalukolongo n’awalala omuzze mufiira abantu.
Peter Kauju akola ng’omwogezi wa KCCA yategeezezza nti olwa Bannakampala okulemererwa okukuuma kasasiro, kino kyongedde obuzito eri ekitongole kino kubanga kifulumya ssente nnyingi okuddaabiriza emyala n’okugigogola.
Ebimu ku bifo ebisinga okucuuma olwa kasasiro mulimu; awali Konteyina Village n’ebitundu ebirala ebiriraanye omwala gw’e Nakivubo, Nabugabo, olujja lw’akatale k’e Nakasero, Kafumbe Mukasa, ebitundu by’omuluka gw’e Kisenyi ebisinga, n’ebirala.