breaking news
Ono ye kampala
Olutalo lwa kasasiro KCCA eneeruwangula?
  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Muky. Jeniffer Musisi (owookubiri ku ddyo) gye buvuddeko bwe yali alambuza Pulezidenti Museveni ekib

Kampala

Bya Martin Ndijjo

NGA abatundira ku nguudo n’abaazimba mu bifo ebikyamu Jeniffer Musisi, bakyamwasimula bugolo kati ate abakanye n’ekikwekweto mw’ayoolera abamansa kasasiro mu kibuga.

Ayise mu tteeka eriyitibwa  ‘Kampala City Council Solid Waste Management Ordinance (2000)’ eryayisibwa mu 2000. Okumala ebbanga eryo lyonna libadde teliteekebwanga mu nkola.

Okusinziira ku tteeka lino, omuntu bwakwatibwa ng’amansa kasasiro avunaanibwa mu mbuga z’amateeka era singa gumusinga aweebwa ekimu ku bibonerezo omuli okusasula engassi ya ssente emitwalo 4  oba okukola bulungibwansi okumala essaawa mukaaga oba okumusindika mu kkomera okumala emyezi mukaaga.

Okusinziira ku mbalirira ya KCCA ey’omwaka 2011/12 ssente obuwumbi 1.8 ze zaayisibwa okukola ku mulimu gwa kasasiro.
Peter Kauju kati omwogezi wa KCCA yategeezezza nti oluvannyuma lw’okukyusa mu bukulembeze bw’ekibuga ne bakisanga nga kijama, basazeewo okuteeka mu nkola etteeka lino okusobola okukuuma obuyonjo kubanga ababaddeko etteeka babadde tebaliteekanga mu nkola yadde nga libaddewo.

Yategeezezza nti bukya kikwekweto kino kitandika, abantu abasoba mu 60 be baakakwatibwa nga bano bavunaaniddwa mu kkooti ya KCCA ne baweebwa ebibonerezo ebitali bimu.

“Amaanyi ge tutaddemu nga tukwata abasuulasuula kasasiro ge galeeseewo enjawulo. Olaba kati ekibuga kinyirira kubanga abantu abasinga babadde bagufudde omuze okumansa kasasiro, obucupa bw’amazzi n’ebirala buli we basanga. 

Ekitongole kyaffe ekivunaanyizibwa ku kukwasisa amateeka kigenda mu maaso n’okukwata abo abakyalina omuze guno,.” Kauju bwe yannyonynodde.


Abantu nga bayita ku kipipa kya kasasiro ekijjudde nga n’omulala kati bamuyiwa wansi mu maaso g’akatale ka St. Balikuddembe.

Agamba nti yadde nga ebikwekweto bitandikidde mu masekkati ga Kampala, ne mu ggombolola za Kampala endala omuli Lubaga, Nakawa, Makindye ne Kawempe bijja kutuukayo.

Olw’omuwendo gw’abantu abali mu Kampala okubeera omungi  bw’ogeraageranya bibuga ebirala mu ggwanga, kasasiro mungi afulumizibwa buli lunaku kyokka kibadde kizibu okumukuumira mu kifo ekimu y’ensonga lwaki abadde amansibwamansibwa buli wamu era nga ekibuga ne kicuuma nnyo olw’ekivundu ekimuvaamu naddala mu biseera by’enkuba

Okusinziira ku biwandiiko bya KCCA, ttani za kasasiro 19,515 ze zaakung’aanyizibwa mu December omwaka oguwedde, nga ku zino ttani 2,551 zaakung’aanyizibwa ne zisombebwa kkampuni z’obwannannyini ezaaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okuyoola kasasiro ate 16,964 zaakung’aanyizibwa bakozi ba KCCA.    


Ekibinja ky’abamu ku bantu abaakwatibwa gye buvuddeko ne bavunaanibwa mu kkooti ya KCCA olw’okusangibwa nga bamansa kasasiro mu kibuga. Wano ng’omukungu wa kkooti awandiika amannya g’abakwate.

Wadde nga KCCA erina ekitongole ekukwasisa amateeka, Kauju yategeezezza nti bano tebamala okukwata abasuula kasasiro kubanga ekibuga kinene y’ensonga lwaki abamu bakyagenda mu maaso n’omuze guno ate ne batakwatibwa.Akubiriza buli muntu okufuuka mbega wa munne.

Agattako nti batandise okusomesa abantu akabi akali mu kumansa kasasiro, batwale obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ekibuga nga kiyonjo. Kauju yategeezezza nti buli muntu alina obuyinza okukwata oyo asangiddwa ng’ajamawaza ekibuga era olumukwata emutwale ku poliisi.

Yadde ng’etteeka lino lisuubirwa okuyamba KCCA okutumbula obuyonjo, kirabika lirimu obunafu, era Kauju agamba nti waliwo n’abantu abawerako abavuddeyo ne balyemulugunyaako. Bagamba nti liyinza obutakola bulungi naddala ku bantu abanene (abalina ssente) olw’ebibonerezo ebisaamusaamu ebiweebwa okugeza bamaneja b’ebifo ebimu nga zi wooteeri abazze bakwatibwa ne basabibwa okusasula emitwalo 4 ne bayimbulwa.

Agamba nti mu kiseera kino ab’ekitongole kya KCCA ekivunaanyizibwa ku by’amateeka batandise okwekenneenya etteeka lino okulaba oba waliwo ekyetaagisa okukyusaamu bakikole.

Wadde ng’abantu bangi basiimye ekikwekweto kino, waliwo abagamba nti Kampala etubidde mu bizibu bingi eby’amaanyi ng’enguudo eziwomoggose era bino Muky. Musisi bye yandisookeddeko nga tannaba kutandika kikwekweto kino. 

Wabula, Kauju yategeezezza nti nga bw’eri enteekateeka ya gavumenti okukyusa endabika ya Kampala, buli mwaka balina entegeka ezikolebwa ze bagobera era mu kiseera kino emirimu emirala gigenda mu maaso n’okukolebwa wamu n’ekikwekweto kino era sikyakulekera awo okutuusa ng’ekibuga kinyiridde.

  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola