breaking news
Central
Obukadde 200 zisaasaanyiziddwa ku bipipa mu Kampala
  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

MU kaweefube w’okukuuma ekibuga nga kiyonjo, gye buvuddeko akulira w’ekibuga, Jennifer Musisi yatongoza ebipipa n’ebidomola omuteekebwa kasasiro. Bino byassibwa ku nguudo z’omu Kampala okuli; Jinja Road, Kampala Road n’ebifo ebirala nga City Square.

Ng’atongoza ebipipa bino, Muky. Musisi yategeeza nti abantu naddala abo abatambula mu kibuga babadde bamala gamansa kasasiro okugeza nga bamaze okunywa amazzi, okulya ebintu ng’amenvu n’ebirala. Yalabula nti abanaakwatibwa nga bamansa kasasiro baakukwatibwa bavunaanibwe ng’amateeka bwe galagira.

Okusinziira ku mwogezi wa KCCA, Peter Kauju  ssente eziri mu bukadde 220 ze zaasaasaanyizibwa okugula ebipipa n’ebidomola ebisukka mu 600 era nga baakugenda mu maaso n’okugula ebirala kubanga bino tebimala.

Kauju yategeezezza nti ekigendererwa kyabwe kya kuteeka mu buli kifo ne ku nguudo ebipipa bino abantu mwe baba bateeka kasairo abakozi ba KCCA mwe banaamusanga okumwogerayo e Kiteezi.

Yagasseeko nti n’enteekateeka z’okutambula nga basomesa abantu okukuuma obuyonjo zigenda mu maaso era bino byonna olunagwa tebasuubira muntu yenna kuddamu kwenyigira mu muze guno nga n’oyo anaakwatibwa tajja kuba na nsonga gye yeekwasa.
 

  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola