breaking news
Ono ye kampala
Tusooke tusomese abantu tulyoke tubakwate - Bameeya
  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Bammeeya okuva mu kkono Kalumba Ssebuliba, Mubarak Munyagwa, ne Perus Munaaba

Kampala

Abakulembeze b’amagombolola g’omu Kampala bawagidde ekya Muky. Musisi okuteeka mu nkola etteeka erikugira abantu okumansamansa kasasiro naye ne bamuwa amagezi bwe bati. Baayogedde ne Martin Ndijjo.

Muky. Joyce Ssebuggwawo meeya w’e Lubaga: Olw’okuba emu ku nsonga ezandeeta okukulembera abantu b’omu kitundu kino kutumbula bya bulamu n’okukuuma  obuyonjo, ensonga ya kasasiro ngikwasiza maanyi, sirinze ba ku disitulikiti.

Natandika dda emisomo mu bitundu ebyenjawulo okukubiriza abantu obutamansa kasasiro n’akabi akamulimu. Ekyennyamiza be bamu ku batuuze be tutuukirira okusomesa kyokka ne batalaba mugaso gwa misono gino era gwe amukugira okumansamansa kasasiro akulaba ng’ omuntu omukyamu.

Yadde nga waliwo omulimu ogukoleddwa naye mu bitundu ebimu naddala ebyenzigotta abatuuze bakyalemeddemu omuze guno.

Mubaraka Munyagwa meeya wa Kawempe; Kikyamu okukwata abantu olwa kasasiro kyokka nga tobateereddewo bifo mwe balina kumuteeka.

“Twategeezebwako nti obuwumbi 17 bwateekebwawo okukola ku nsonga okuli n’ezokugula ebipipa bya kasasiro naye ffe eno ewaffe (Kawempe) tewali kyakoleddwa, ebipipa Muky.

Musisi bye yagula tubiraba ku City Square era nabyo tebimala y’ensonga lwaki  mu Kawempe ebikwekweto tetunnaba kubitandika yadde nga tukubiriza abantu obutamala gamansamansa kasasiro.

Ebitundu nga Kaleerwe, Bwaise, Mpererwe, Wandegeya n’ebirala y’ensinga omuze gw’okumansa kasasiro.

Benjamin Kalumba Ssebuliba owa Nakawa: E Nakawa etteeka lino tubadde tetunnaba kuliteeka mu nkola kubanga tetulina bipipa bya kasasiro. Ate n’ekirala abantu basaana kusooka kusomesebwa.

Ffe twasazeewo kusooka kusomesa bantu mu kiseera kino okutuusa lwe tunaabifuna olwo tutandike okukwasisa amateeka. Tekiba kya buntu okukwata abantu ng’ate tobateereddewo mwe balina kusuula kasasiro.

Ebifo by’enzigotta mu kitundu kyange omuli; Mbuya, Kinnawattaka, Luzira, Bukoto, Banda, kitintale n’ebitundu by’omuluka gw’e Nakawa bye bimu ku bisinga okuba n’obuzibu bwa kasasiro. 

OMUMYUKA wa Meeya owa Munisipaali y’e Makindye, Muky. Perus Munaaba; Mu kaweefube w’okukuuma obuyonjo mu kitundu kyaffe, tubadde tugezezzaako okugenda nga tusomesa abantu bayige okukuuma obuyonjo mu mbeera zaabwe ze babeeramu nga tebamansa bisaaniiko.

Ebitundu ebisinga okubaamu ebisaaniiko y’e Katwe mu kibuga ky’abaddugavu wakati, Katwe-Kinyoro, Nsambya Kevina, Nsambya West, Kibuye, Jjuuko, Wasswa, Namuwongo, Kisugu, Wabigalo n’ebitundu ebirala.

Mu bitundu bino tubadde tutaddeyo nnyo essira okulaba ng’ebimotoka byaffe ebya (KCCA) bigendayo okusinziira ku pulogulaamu gye twakola okuggyayo ebisaaniiko bino.

Kituwadde amaanyi kubanga abantu abamu babadde bagezezzaako okumanya pulogulaamu y’ebimotoka bino nga kasasiro bamukuumira ku mbalaza zaabwe wadde nga mukyalimu obumulumulu.

Eky’okusiba abantu ssi kye tubadde twagala okukola naye tukyagenda mu maaso n’okubasomesa bwe banaagaana olwo nga tukissa mu nkola.

  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola