breaking news
Bukedde Ku Ssande
Kola obuwunga mu bummonde oyoole ssente
  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Omukyala ng’agula obummonde.

Kampala

Bya Dickson Kulumba

EMBEERA bwekyuka naawe omuntu anoonya ssente olina okulaba ng’okyuka nayo. Ssente zibuze naye osobolaokweyambisa ebintu ebikwetoolodde  okubaako ne ky’oyingiza.

Endiisa y’abaana ennaku zino etawaanya abantu bangi olw’obutaba na byakulya eby’ebika ebyenjawulo ebisaana okuwa abaana abali wakati w’emyezi ebiri n’emyaka 12 ne bakula bulungi.

Sam Ssegirinya, ow’ekibiina ky’obwannakyewa ekirwanirira omuntu waabulijjo okuva mu bwavu ekya Save the Rural Out of Poverty agamba nti omuntu asobola okwekolera obuwunga buno okuva mu byokulya nga
1. Obummonde
2. Ovakedo n’ensigo za ffene
3. Ebyennyanja
4. Omuceere
5. Obulo n’ebirala
Emmere eno yonna eyamba mu kukula kw’omwana n’atakonziba ate ng’okekkerezza kuba osobola okubwekolera ate n’otunda n’oyingiza ne ssente.

Enkola yaabwo

1. Salaasala obummonde n’ensigo za ovakedo obikaze, bw’omaliriza funa ekyennyanja ekikalu nga tekiriimu munnyo, bino  bisiikire wamu.
2. Bitwale ku kyuma ekikuba obuwunga oba bw’oba n’akuuma awaka osobola okukakozesa n’obisa ne bigonda bulungi.
3. Ekyo nga kiwedde bipakire bulungi otunde oba ofumbe kuba obuugi buba buwedde okukola.

Enkola endala
1. Funa amapaapaali, agatandise okumyukirira ekitundu ekya wansi. Gasale bulungi mu ngeri eneekuyamba okugakaza amangu.
2. Funa ekikoosi kya ffene (ekikuta kya ffene nga kyakaggyibwamu emiwula) ng’abadde ayengedde nnyo okisaleko ekitundu ekyoku ngulu ekiriko obufumita.
3. Funa ensigo za ffene ozikaze bulungi, zisiike ozigattemu soya oba obulo obise mu kyuma ofunemu ensaano.
4. Ekyo nga kiwedde, pakira mu kintu ky’oyagala otunde oba fumba onywe.
By’okozesa gye bikoma okuba ebikalu n’obuwangaazi bw’obuwunga.
 

  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola