KampalaBya Gladys Kalibbala
EMBEERA y’ebyenfuna weetuuse buli muntu alina okufungiza okulaba ng’alwanyisa obwavu.
Abakyala b’e Kawafu kumpi ne Abayita - ababiri ku lw’e Ntebe bamu ku bavuddeyo okulwanyisa obwavu nga bakozesa obutonde okufuna ssente nga bataddemu kitono.
Bagamba nti, okuva lwe baayiga okubumba ssigiri ennaku baagivaako kati balya kigagga. Harriet Othieno, agamba nti yapeekanga bba ensawo y’amanda buli luvannyuma lwa wiiki bbiri n’ekitundu naye kati kati ensawo y’amanda agifumbisa omwezi mulamba n’ekitundu.
Kino yakituukako oluvannyuma lw’okuyiga okubumba essigiri ezikekkereza ate natakoma ku yiye yokka wabula n’agufuula mulimu mw’afuna ssente.
“Ntunda ssigiri ezisukka mu ttaano buli wiiki nga ziri wakati wa 5,000/- ne 50,000/- okusinziira ku bunene bwazo,” bwannyonnyola. Banne abaamuyigiriza Jamillah Abudallah ne Hamisa Abudallah bagamba nti omulimu guno baagutandika mu
April w’omwaka oguwedde nga baasomesebwa ab’ekitongole kya ‘Kawaga Community Initiatives for Development’.
Bagamba nti mwe baggya fiizi z’abaana n’okulabirira amaka. Ng’oggyeko essigiri entono babumba n’amasiga ag’omu maka nga gakozesa enku oba amanda era byombi babiteekako ku ssente eziri wakati wa 200,000/- ne 400,000/- era ng’omwezi bafuna abantu waakiri basatu.
Enkola ya ssigiri zino
1. Ettaka n’ebisubi ebikaze ng’obitemyetemye. “Olumbugu, kasalammamba n’ebiviiri by’ebitoogo bikola bulungi. Embubbu ate yo nsuffu kuba tekikwetaagisa kulinda kukala kuba mugumu.
2. Sotta ettaka osseemu essubi ly’otegese okole akadongo. Kozesa ngalo okusobola okumalamu empulunguse kuba bw’ozirekamu essigiri eggyamu enjatika. Obungi bw’ettaka ly’okozesa bwe bungi bw’ebisubi by’ogattamu.
3. Ettaka libikke mu kaveera obutayonooneka okutuusa lw’onoolikozesa. Funa ekifo ekitereevu bw’oba obumba obutakola ssigiri ekyamye.
4. Oluvannyuma giwunde n’akambe oba ejjambiya okusinziira ku bunene bwayo.
5. Gyanikeko katono mu kasana era ogikubako ‘polisi’ aginyiriza olwo otunde.
Ettaka ery’ebbumba n’ery’ekiswa likola naye bisika omuliro essigiri n’eyokya ku ngulu ekitali ku eyo ekoleddwa mu ttaka.
Ssigiri togiyiwaako mazzi ng’ofumba kuba kino kigireeta okwatikayatika. Ekirala togikooneramu manda kuba kiginafuya.
Ebirungi bya ssigiri z'ettaka.
1. Tereeta mukka bw’oba okozesezza nku nkalu bulungi wadde ebbugumu.
2. Ekekkereza enku n’amanda.
3. Enkola yaazo ekuuma obutonde bwensi.
4. Olw’okuba wakati waayo wabaawo n’obuwanvu obumala, ssefuliya etuulira ddala munda omuliro ne gutagendera awo ky’ofumba ne kiggya mangu.