breaking news
Amawulire
Abalenzi baleebezza abawala
  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Abamu ku bayizi abaasinze ku ssomero lya Lubiri High nga bajaganya. Ssenyondo Douglas (gwe basitud

Bya Ahmed Mukiibi ne Angel Lubowa

ABALENZI baalebezza abawala mu bigezo bya S4 ebyafulumiziddwa eggulo wakati mu kujaganya n’okusagambiza olw’abayizi okubiyitira waggulu okusinga emyaka egiyise.

Ku bayizi 267,024 abaatudde ebigezo bya S.4, abayizi 254,220 baabiyise era beesunga kweyongerayo mu S5 kyokka bannaabwe 12,804 ge bakaaba ge bakomba olw’okubigwa n’enkoona n’enywa.

Ebigezo bino byakoleddwa wakati wa October 14 ne November 22, 2011 mu masomero 2,683 okwetooloola eggwanga Ng’ayanjula ebyavudde mu bigezo, omuwandiisi w’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, Mw. Matthew Bukenya yategeezezza nti ku bayizi 254,220 abaabiyise, kuliko 22,630 abaakubidde mu ddaala erisooka.

Abayizi 48,452 baayitidde mu ddaala eryokubiri, 67,644 baayitidde mu ddaala eryokusatu ate 115,494 baayitidde mu ddaala eryokuna.

Abayizi 11,173 baagudde nga baafunye guleedi ey’omusanvu ne mwenda ate 6,297 bali mu guleedi X, essibwamu abayizi abakolako ebigezo ebimu, ebirala ne batabikola.

Bukenya yategeezezza nti abalenzi tebaalabizza bawala ku njuba mu kuyita ebigezo waggulu mu Gguleedi esooka, eyokubiri n’eyokusatu.

Baasinze abawala mu masomo gonna okuggyako mu Lungereza.

Yagambye bwe gwatuuse ku kubala ne ssaayansi ne gujabagira kuba abalenzi bibiyise nnyo.

Abayizi bonna awamu, Bukenya yagambye baasinze kuyita Lungereza, eby’eddiini, History, Commerce n’ebyobulimi kyokka baagudde nnyo Account, Chemis try ne Biology.

Bukenya yagambye nti waabaddewo n’okuddirira mu kukola Geography n’okubala.

Yagambye nti enkola ey’okugulira abayizi obutabo omuli ebibuuzo n’ebiddibwamu erina engeri gy’enafuyizza abayizi ne balowooleza mu kuyita ebigezo mu kifo ky’okutegeera ebintu.

Bukenya yasiimye Pulezidenti olwa pulogulaamu ya Bonnabasome wa siniya kuba ku bayizi 107,977 abaatudde, ebitundu 39 ku 100 baabadde ba USE.

Abayizi bano kuliko abasibe 27 abaatuulidde mu kkomera e Luzira. Bukenya yagambye nti ku basibe abo, mukaaga baayitidde mu ddaala eryokubiri, babiri mu ddaala eryokusatu ate 17 mu ddaala eryokuna.

Waliwo n’abayizi 100 abalina obulemu ku mibiri okuli bamusibe 40, ne bakiggala 49 nabo abaatudde S4 era nga baakoze bulungi.

Wabula Bukenya yagambye nti ekizibu kye baazudde ku mulundi guno gwe muwendo gw’abayizi abeewandiisa okutuula ebigezo kyokka ne batalabikako nga bitandise.

Ku bayizi 273, 363 abeewandiisa okutuula ebigezo, 267,024 bokka be baalabikako mu bigezo, ekitegeeza nti abayizi 6,357 beebulankanya ne batakola bigezo.

Omuwendo gw’abayizi abeebulankanyawo ne batatuula bigezo, Bukenya yagambye gweyongedde kubanga mu 2007 baali 3,951, mu 2008 baali 3,792, mu 2009 baali 3,849 ate mu 2010 baali 4,848.

Yagambye ntu UNEB etandise okubuuliriza okuzuula ensibuko y’obuzibu buno.

Abazadde n’abayizi, basobola okumanya ebyavudde mu bigezo nga bayita mu kuweereza obubaka bwa SMS ku ssimu zaabwe.

Owandiika ekigambo: UCE n’olekawo akabanga n’ossaawo Index Number mu bujjuvu n’oweereza ku 6600 ku mukutu gw’essimu gwonna.

 

  • Feb 08, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola