breaking news
AsiikaObulamu
Obubonero 10 obulanga endwadde mu mubiri
  • Feb 09, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

Bya Ruth Nazziwa

ABANTU bangi bafuna obuzibu ne batuuka n’okugenda mu basawo kyokka ng’omubiri gubabuulira kye gwetaaga nga basobola okwetaasa awatali kukozesa nsimbi nnyingi nga bakozesa emmere.

Omubiri guyita mu ngeri nnyingi okwogera n’omuntu ku mbeera y’obulamu bwo kyokka ng’abangi tebaguwuliriza olw’obutamanya kye guteegeza ekiyinza okuvaako obulwadde okukula kuba guba tegufunye kye gwetaaga.

Dr. Ivan Mukasa, owa St. Jude Medical Centre ku Zai Plaza akuyigiriza okusoma n’okuwuliriza obubaka omubiri gwo bwe guba gusindise kikusobozese okuba omulamu obulungi.

1. Okwasimula kamu ku bubonero akakulabula nti omukka gw’oyingizza mu mubiri gulimu obutwa oba mucaafu. Kino kyeyoleka singa osika enfuufu, kalifuuwa, omukka ogulimu kaamulali, ebiragalalagala ebirala omuli sigala n’enjaga.
Singa ofuna akabonero kano, okufulumya ebicaafu buno lya obutungulu obubisi, amazzi agaliko entangawuuzi, omujaaja, katunguluccumu n’ebikoola ebirala eby’obuloosa kuba bigogola emiwaatwa omuyita empewo n’okusaabulula obutwa mu mubiri.

Ebisulo biranga buwuka

2. Okukulukuta eminyira olutatadde, kabonero akalaga nti amazzi gayitiride mu mubiri.
Lino limu ku makubo omubiri mwe guyita okufulumya amazzi agaba gaguyitiriddemu naddala ng’omubiri tegugeetaaga. Ekirala singa ebbugumu liyitirira mu mubiri oba ng’obuwuka bukuyingidde, nakyo kiyinza okuvaako eminyira okukulukuta.

Lya enniimu, entangawuuzi, mangada,emicungwa, budalasiini, enva endiirwa, obutunda, katunguluccumu, obutungulu, omubisi gw’enjuki, ennyaanya, amazzi n’omubisi gw’ebibala.

Bino biyamba okugogola emiwaatwa gy’empewo, okusaabulula eminyira, okutta obuwuka n’okubufulumya.

3. Okwayuuya kabonero akalaga nti ekirungo kya ssukaali mu mubiri kikendedde, otulo oba obukoowu byonna biyinza okuvaako okwayuuya.
Lya emmere erimu ssukaali omungi era owoobutonde okusobola okuwagira obwetaavu bw’omubiri ng’ennaanaansi, amenvu, ebikajjo, emiyembe egyengedde n’ebirala.

4. Ebisulo bwe bikusula ku kitundu ky’omubiri kyonna omubiri guba gukutegeeza nti waliwo obuwuka obukuyingidde mu kitundu ky’omubiri gwo ekiguleetera okuyimbula abaserikale okusobola okubulwanyisa.
Okukkakkanya ekisulo we kiba kyeyolekedde, oyinza okusiimuulawo mpolampola okutuusa bwe kigenda.
Ekirala lya emmere eyamba okwongera amaanyi mu baserikale b’omubiri gwo bongere okulwanyisa obuwuka obugulumba.

5. Kasikonda, alaga nti omubiri tegulina minnyo gimala naddala egisangibwa mu mazzi ag’ensulo oba ag’enkuba n’ettaka kusobozesa mubiri kukola mirimu gyagwo.
Mu mbeera eno, olina okunywa amazzi n’emmere ey’omuttaka okusobola okufuna eminnyo gino.
Emmere y’omu ttaka gy’olina okulya mulimu: balugu, kisebe, amayuuni, muwogo, lumonde, obummonde obuzungu
n’endala.

Ensanjabavu zikkakkanye na butungulu

6. Okuzimba ensanjabavu kiraga ng’omubiri gufunye obuvune mu kitundu kyagwo ekimu ekiguleeta okusindika abaserikale okulwanyisa obuwuka oba okubuziyiza okweyongera okugutuusaako obulabe.
Kyeraga nnyo singa omuntu afuna ebbwa, era ensanjavu eriraanye ekifo awali ekiwundu ezimba kuba abaserikale baba beekuumidde awo okuzinda omulabe.

Lya emmere ewa abaserikale b’omubiri amaanyi okusobola okwejjanjaba n’eyamba okuwonya amabwa. Muno mulimu: Obutungulu obubisi, katunguluccumu ekinzaali ekiganda, emiyembe n’amapeera amabisi, enniimu n’omubisi gw’enjuki.

7. Kammunguluze alanga omubiri obutabaamu musaayi oba mazzi agagumala okusobola okutuukiriza emirimu gyagwo.
Nyiikira okunywa amazzi oba omubisi okuva mu bibala, okulya ebiyinza okukuzzaamu omusaayi nga ssupu w’ebijanjaalo, obusera, beetroot, ebbugga, doodo, nnakati, ennyaanya n’ebirala.

8. Okusiiyibwa omubiri oba okubabuukirirwa kiraga ng’obutwa bufuluma mu mubiri era kino kivaako okibutuka. Ate singa omubiri gukusiiwa naddala mu nkovu, guba gukulaga nti ebbwa liwona ekiguleeta okusindika omusaayi omungi mu kitundu ekyo nga gwejjanjaba. Lya kaamulali owa kiragala, omuddugavu n’omumyufu kisobozese omubiri okwejjanjaba, okutta obuwuka n’okufulumya obutwa mu mubiri.

  • Feb 09, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola