breaking news
Ag’eggwanga
Ababaka ba Gavt. bagumizza aba UTODA
  • Feb 09, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Kirabira (wakati) ng’ayogera n’aba UTODA. Ku ddyo ye Chris Sengooba

Kampala

Bya Herbet Musoke

ABABAKA ba Gavumenti mu Kampala bagumizza baddereeva ne bannannyini mmotoka abeegattira mu kibiina kya UTODA nti bakyaliwo era baakusigala nga bakolagana ne KCCA mu by’entambula.

Ababaka okwabadde  Alice Muwanguzi, owa masekkati ga Kampala, Rose Kirabira n’owa Makindye Hussein  Kyeyune  baagumizza aba UTODA nga bagamba nti wadde kontulakiti yaabwe  yaggwaako ekyalina omugaso mu by’entambula.

Ng’ayogerera mu lukiiko olwakubiddwa ku Sharing Hall e Nsambya, RCC Alice Muwanguzi yagambye nti “UTODA tukyagyetaaga okuyamba abakadde, abaana, abateesobola n’okuyamba ku bulippagano bw’ebidduka nga bw’ebadde ekolagana ne poliisi”.

Ate ssentebe wa UTODA mu Kampala, Hajji Musa Katongole yagumizza baddereeva nti akulira KCCA, Jennifer Musisi yabayise era baliko enteeseganya ze balimu ezigenda okutuusa enjuyi zombi ku nzikiriziganya.
 

  • Feb 09, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola