breaking news
Ebyobulimi
Engeri ennyangu ey'okufukirira ebirime mu biseera by'omusana
  • Feb 10, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

Bya Herbert Musoke

OKUFUKIRIRA ebirime ku musana y’emu ku ngeri eyamba omulimi okusigala ng’afunamu kuba mu kiseera kino bibeera bya bbula ate ng’abaguzi bangi.

Waliwo ebyuma ebisobola okukozesebwa okufukirira ebirime kyokka abalimi abamu tebasobola kubigula olwa bbeeyi yaabyo ate nga n’okubikozesa byetaagisa obukugu obwa waggulu ekibalemesa okubikozesa.

Caroline Nansamba, omulimi w’enva endiirwa e Nkumba - Ntebe agamba nti omulimi asobola okusigala mu mulimu gw'obulimi ng’okozesa ssente entono ddala nga weeyambisa ebintu ebitwalibwa okuba kasasiro ng'obucupa bw’amazzi n’obuveera.

Enva endiirwa osobola okuzirima mu nnassale oba mu mukebe oba ebbaafu. Kuno osimbako akati kw’osiba eccupa y’amazzi olwo n’etonnya okukuuma by’osimbye nga bifuna amazzi agabimala okukula obulungi.

Ku birime bye wasimbuliza edda, bisimbeko obuti osibeko akakebe mwoyiwa amazzi ne gatonnya mpolampola ku kikolo ky'ekirime.

Oba osobola okusimba akacupa kano mu ttaka ku kikolo ky’ekirime olwo amazzi ne gagenda nga gayingira mpola mu ttaka.

Oyinza okweyambisa akaveera mw'oyiwa amazzi n’ofumitamu obutuli obutono ddala n'osiba ku kati okumpi n'ekikolo ky'ekirime.

ENKOZESA Y’ECCUPA

1. Funa akacupa okafumitemu akatuli akatonotono mu ntobo olwo ogisibe ku kikolo oyiwemu amazzi. Enkola eno ekuyamba nti amazzi gagenda mpola era gasobola okumala wiiki nga tegannaggwamu.

Omulimisa ng'alaga engeri gy'osiba akacupa ku kati okufukirira nnasale ey'omu kadomola.

2. Osobola okugisiba ku kati oba ku ttabi kyokka gano gaba gatonnya nnyo. Eno bweggwamu kyangu okugijjuza kuba eba yeesimbye.

3. Mu ccupa yiwamu ettaka ttono eriyamba okusengejja amazzi agatonnya n'okugaziyiza okuyiika ennyo.

4. Ku birime ebirala ng'emiyembe funa ekintu ekinene nga ekidomola okisibe wakati mu matabi olwo amazzi gatonnye wansi ku kikolo.

  • Feb 10, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola