breaking news
Amawulire
Ab’ewa Kisekka 63 abaakwatibwa e Juba bayimbuddwa
  • Feb 11, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Abamu ku basuubuzi Bannayuganda abaayimbuddwa

Kampala

 Bya ROBERT MUTEBI        

 
KKOOTI mu kibuga Juba ekya Sudan eyimbudde Bannayuganda 63 abaali bakwatiddwa mu kwekalakaasa olwa munnaabwe eyattibwa wiiki bbiri emabega.
  Wiiki ewedde, abasuubuzi 63  mu kabuga Milika mu Juba baakwatibwa poliisi bwe baali beekalakaasizza ku nguudo nga bavumirira eky’Abasudani okutta omusuubuzi Munnayuganda  Jacob Kasagga gwe baakuba amasasi bwe yali aggulawo edduuka lye.
   Abasuubuzi bano bonna baali bakolera mu katale ka Kisekka ne bagenda e Juba okuyiiyiza eyo era nga bamazeeyo ebbanga erisoba mu mwaka.
  “Amawulire gaatuyamba nnyo era abaana bonna baabayimbudde oluvannyuma lw’okusasulayo ddoola za Sudan 600 era bazzeeyo ku mirimu gyabwe kati bakakkalabya,” Edward Kakoba omu ku Bannayuganda abakolera e Sudan bwe yategeezezza.
   Minisita w’ebyobusuubuzi, Amelia Kyambadde yategeezezza nga gavumenti ya Uganda bw’etandise enteeseganya ne Sudan ku ngeri Bannayuganda abakolera mu Sudan gye balina okuyisibwa.
  • Feb 11, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola