
Besigye ku mmotoka ng’awuubira ku bawagizi be e Mityana.
KampalaBya Luke Kagiri
Poliisi y’e Mityana ekubye omuka ogubalagala n’amasasi bwe yabadde ng’egumbulula abomukago gwa A4C abaakulembeddwaamu Dr . Kiiza Besigye, nga bayisa ekivvulu mu kibuga ky’e Mityana.
Kyaddiridde Besigye eyabadde ali n’omubaka Mathias Mpuuga akulira omukago guno, Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago, Ibrahim Ssemujju omubaka wa Kyadondo East n’abalala baakubye olukungaana ku Ssaza e Mityana.
Olukung’aana nga luwedde, abawagizi beeyiye ku luguudo nga bayisa ebivvulu. Baabadde bayimba ennyimba eziwaana Besigye n’abalala.
Nga batuuka ku Banda Stage, omuduumizi wa poliisi y’e Mityana, Alfred Bagambaki yabalagidde bakozese oluguudo lwa Nyonyi Road, oluyita ebweru wa Mityana kyokka Besigye ne yeerema.
Wano aba poliisi we baatandikidde okumukuba ttiyaggaasi kyokka yaleddewo mu kubbo. Tiyaggaasi bwe yayitiridde olwo aba poliisi ne beeyongera emabega ku ludda lwa poliisi, ate Besigye ne banne ne beeyongerayo ne batuuka ku luguudo lwa Kampala Road lwe baabadde bamulemesezza okutuukako.
Ebirimu gyasannyaladde amaduuka ne bagaggala ng’amasasi ne ttiyaggaasi bikubwa mu buli kifo.
Bagambaki yagambye nti kino baakikoze kuba aba A4C baazimudde ebiragiro ebibakugira okuyita mu kibuga ky’e Mityana.