Kampala
NZE Juliet Ndagire, mbeera Bweyogerere. Eno ye Valentayini yange ey’okubiri nga ndi mu mukwano n’omulenzi wange wabula zombi nzimala nneezinze kuba omwami wange zimusanga ali safaali ku mirimu.
Omwaka oguwedde saasobola kucakala kuba munnange yali ku mulimu era yansiibula ebula ennaku bbiri olunaku luno lutuuke.
Nasooka ne ndowooza nti alimba kyokka mu butuufu yagendera ddala.
Ku luno mbadde mmwesunze nga nsuubira nti ng’enda kwesasuza byonna bye nnasubwa ku mulundi oguwedde.
Kyokka yantegeezezza bw’atagenda kubeerawo. Kino kyampisizza bubi kuba mu butuufu mbadde mmwesunze.
Naye akageri k’anoonya ssente ng’enda kuguma ndumaleko nga nneezinze.