breaking news
Ssenga
Olunaku lwa kuzza laavu yaffe buggya
  • Feb 13, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

MMAZE ebbanga nga nsaba katonda  olunaku lw’enkya olw’abaagalana nze ne munnange atuyambe tulukozese okuzza omukwano gwaffe obuggya.

Nze Aisha Naikoba, mbeera Buwambo mu Wakiso.

Okutwalira awamu valentayini y'omwaka oguwedde teyannyumira nga bwe nnali nsuubira oluvannyuma lw’omwami wange okubulwa akadde akacakala olw’emirimu gye yalina kw’olwo.

Ng’olunaku terunnatuuka omwami wange yali ansuubizza okuntwala yonna gye njagala tulye ku bulamu wabula n’alemererwa.

Nga tannakomawo nalowooza ebintu bingi wabula ne ng’uma okutuusa lwe yakomawo ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro.

Ekyanzizaamu amaanyi bwe yali akomawo yandeetera akamuli ne swiiti era n’anneetondera olwa byonna ebibaddewo.

Olunaku nga luwedde twafuna ebizibu omwali n’omwana waffe okufa era okuva olwo amaka emirembe mu maka gaffe gyakendeera.

Wabula ku luno ng’enda kufuba okulaba ng’omukwano gwaffe guddamu nga bwe gwali ku Valentayini ewedde. Nnina ebirabo bye ntegekedde omwami wange era namusabye kw’olwo antwaleko ku bbiici ng’eno gye ng’enda okubimuweera.

  • Feb 13, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola