
Amasiro ga Kanyange
KampalaBya Dickson Kulumba ne Kevin Nambawubye
EKITONGOLE kya Buganda Land Board kiri mu kunoonyereza ku butuufu bw’abantu abeesenzezza ku mayiro y’amasiro ga Namasole Kanyange e Kagoma mu disitulikiti y’e Wakiso ng’era ensonga zino zaatwaliddwa dda mu kkooti.
Kino kiddiridde abantu abatannategeerekeka okutunda n’okwesenza ku ttaka ly’amasiro gano.
Akulira ekitonggole ky’ebyettaka e Mmengo ekya Buganda Land Board (BLB), Kyewalabye Male yagambye nti ensonga zino bazirondoola n’obwegendereza oluvannyuma lw’abantu bannakigwanyizi okwenyigira mu kutunda ettaka lino abamu ne balisibako n’envumbo.
“ Tugezezzaako okutuukirira abantu bano tubannyonnyole ebikwata ku ttaka lino nti baliriko mu bukyamu ne beerema. Noolwekyo tuzikwasizza bannamateeka baffe bazongereyo mu kkooti,” Male bwe yategeezeezza.
Katikkiro wa Nnamasole Kanyange, Samuel Kiwombojjo yategeezezza nti olw’obutabanguko obwagwa mu Buganda mu gy’e 1960, bw’aleetera ettaka lino okusigala mu Basigire era bano be baamanyanga engeri gye balirabiriramu, abalala kyokka ne basalanga olukujjukujju ne batunda ku ttaka lino.
Yagasseeko nti mu kiseera kino ab’ekitongole kya Buganda Land Board beefuze ettaka lino nga be bagaba liizi wamu n’okufuna emisolo egiva mu bintu ebiri ku masiro gano.

Amasiro ga Kanyanga
“Kino kituleetedde okusooba mu nkola y’emirimu gyaffe kubanga tewali nsimbi yonna abakulu bano gye batuddizza eno wansi nga ffe abalabirira ekifo kino,” Kiwombojjo bwe yagambye.
Enkaayana ku ttaka
Ekitundu ky’ettaka lino okwazimbibwa kalina nakwo kuliko kalumanywera. Ku nsonga eno, Kiwombojjo agamba nti ensonga za poloti eno mpanvu era yategeezebwa aba Buganda Land Board ne Namasole nti baziveeko.
Wabula Kalemba omuwandiisi w’ekyama owa Namasole aliko kati Mary Nakaggwe, yategeezezza nti omugenzi Namasole Nambogo II ye yawa ekitundu ky’ettaka lino eri Fred Kiwanuka-eyali yeeyama okumukimiranga amazzi bwatyo n’akkiriza abeere awo. Ebbanga bwe lyayitawo, Kiwanuka yafuna obuzibu mu byensimbi n’aguza Steven Kalyango oluvannyuma naye eyaguza omuserikale Moses Abbasa, aliriko kati.
“ Abbasa yatoola ekkanzu n’agitwalira Namasole aliwo kati era n’agenda n’e Mmengo ne bamukkiriza. Mu byobuwangwa, wano Namasole abeera avunaanyizibwa butereevu ku ttaka, alina obuyinza okukolako ekintu kyonna. Era nze mu kulaba okwange lino lye tusigazzaawo singa lirabirirwa bulungi litumala. Gwe bw’ogendako ku mbuga ya Natoolo e Lukuli-Makindye, kumpi tekyaliwo naye ffe tukyalinawo awalabika! ” Kalema bwe yannyonnyodde.

Kalina eri ku ttaka
Mu kwongerako ne Bukedde, Namasole Mary Nakaggwe yategeezezza nti talina muntu gwe yali aguzizza kitundu ku ttaka ly’amasiro gano. Yayongedde n’ategeeza nti okujjako empapula ze yasanga nga ziraga nga ssengawe Nambogo II bwe yagaba.
“Ebintu bino tebirina kye binkwatako kubanga byonna nasanga byaggwa dda. Era nsaba buli omu akimanye nti wakati wange ne Namboggo II ate waliwo mukulu wange Christine Nankya ono ye yasala ku ttaka lino n’azimbirako abaana baffe. Naye okuggyako ebyo, tewali walala we mmanyi,”bwe yategeezezza.
Nakaggwe yagambye nti ensonga z’ettaka lino ziri mu mikono gya Buganda Land Board kubanga be basolooza buli kimu.
Ensonga endala egambibwa nti evuddeko ettaka lino okutundwa kwe kuba nti abalabirira amasiro gano tebalina kkubo ddala lyonna mwe bayingiriza nsimbi za kwebezaaawo.
Kiwombojjo yennyamidde okukitegeera nti amaanyi agasinga Mmengo egenda kugateeka ku masiro g’e Wamala so nga na ga nnyina Ssekabaka Ssuuna gandibadde gafiibwako.