breaking news
Ebyobulimi
'Omulimi ataafukirire waakulya mu ppipa’
  • Feb 13, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Ennima y’ennyaanya eyomulembe gy’iosaanye okukoppa ofune akawera.

Kampala

Bya Olive Lwanga

EYALI omubaka wa Mawokoka South, Kityo Mutebi ebyobufuzi olwamukeeta obuufu abuzzizza ku buylimi. Akozesa ennima eyomulembe omuli okutereka amazzi era ye ne bwe kuba kwa musana asigala alima.

EBYOBULIMI NNABISOMA
Kityo Mutebi ebyobulimi yabisomera Bukalasa mu 1968, gye yava n’akolako e Mukono.

“Nnali omu ku baaleeta kooko n’aganja nnyo e Kasawo, Nakisunga n’e Nkokonjeru. Amin bwe yajja mu ntebe mu 1971, abalimisa bonna yawa ekiragiro basomese ebyobulimi. Era okusooka naweerezebwa e Nkokonjeru, ndi omu ku baatandikawo faamu e Kyambogo.

Mu 1987 nali muwandiisi wa byanjigiriza ku disitulikiti e Mpigi. Mu 1992 nali muwandiisi wa byabulamu era mu mwaka gwe gumu nawangula ekirabo ky’abalimi abalimira ku faamu entono. Emmwaanyi ze zampanguza,” Bw’ajjukira. Y’omu ku baatandika ekibiina ekigatta abalimi ekya Uganda National Farmer’s Association (UNFA) mu 1996, omwaka gwe yagenda mu Palamenti.

Oluvannyuma lw’emyaka 12 nga mubaka, yasikirwa John Bosco Lubyayi Kiyingi, ye Kityo n’adda mu bulimi.

BY’ALIMA
Kityo alimira ku kyalo Kasubikamu e Buwama.“Buli mulimi asaanye okulembeka amazzi n’agatereka kuba akaafukirire obulimi bukka kumukaluubirira gye bujja,” bw’agamba.

Agamba: Nasima ekinnya amazzi mwe ngakung’aanyiza, bwe kijjula nga gagenda mu ttanka ya liita 500 oluvanyuma ne nfukirira. Ekinya kya liita 8000, era nze ntereka amazzi agaweza liita emitwalo 10.

Nnima ennyaanya, emboga, emiyembe, bbogoya , kaamulali n’emmwaanyi . Kuno nzisaako okulunda ente. Ennyaanya nzirimira ku miti waggulu sso si zino eziranda. Zino tezirumbibwa nnyo biwuka ate n’enkuba tezikosa nnyo.

Ennya ze nnima ze za musununwa, zibala nnyo ate abantu bazaagala nnyo kubanga zirwawo okuvunda. Ate n’ekika ekya Moner Maker nakyo kikola ssente.

Mu kitundu kya yiika nsobola okusimbamu ebikolo by’ennyaanya 500 mu mabanga ga ffuuti 3x3. Sizoni ewedde nafunamu obukadde 17 mu kitundu ky’ayiika!

Wabula kati nsuubira obukadde 8 bwokka kubanga enkuba yazikubamu ne zikunkumuka n’okulumbibwa ekibabuko. Eddagala eriyitibwa Thiovit Jet weeriri naye enkuba ebadde eryozaako.

AKATALE
Ku sizoni eno nsimbye ennyaanya ku kkwoota ya yiika; emboga ku kkwoota ya yiika, kaamulali n’ebirala. Nze ensigo nzigula mu maduuka agamanyiddwa.

Nzudde nti buli kikolo kya nnyaanya kisobola okuvaako kkiro wakati wa 8-10 buli sizoni. Bookisi eri ku 120,000/, ebaamu kkiro 40 wabula nze kkiro ngitunda nnusu 1,600/- mu Uchumi ne Shoprite. Kkiro emu etera okubaamu ennyaanya nga 15.

                                                                                                                         Mutebi ng'afikirira emboga ze

Mu Uchumi ne Shoprite olumu mbawa kiro 800 ez’ennyaanya n’emboga kkiro 350.

Buli wiiki ntundamu emirundi 2, ku Mmande ne ku Lwokutaano. Ate buli luvannyuma la wiiki bbiri nkungula ennyaanya.

EMBOGA
Mu yiika nnimamu ebikolo by’engoba 4,000 mu mabanga ga fuuti 2x2. Amazzi ngafukirira ku bikoola kubanga bigatereka amazzi okusinga okufukirira mu ttaka.

OBUZIBU

  • Sizoni ze tulimiramu kati zaakyuka, naye abalimi tebannaba kukitegeera. Omulimi ataafukirire ajja kuba wazibu.
  • Akatale k’ebirime weekaliwabula abalimi batono kubanga batya okuteekamu ssente zaabwe.
     
  • Feb 13, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola