
Nankabirwa mu lusuku lwe.
KampalaBya John. B. Niyonzima
ABALIMI b’ensuku bakungiddwa okutandika okukozesa ebigimusa n’okuddamu okuzibikka okukuuma amazzi mu ttaka n’okufuna enkota ezeegasa.
Minisita avunaanyizibwa ku buvubi, Ruth Nankabirwa agamba nti okuva lwe yategeera ekyama ekiri mu kussa ebigimusa mu lusuku, kati abaza amatooke ageegasa era omusana tegukosezza lusuku lwe.
OKUSSA EBIGIMUSA MU LUSUKU
Sima ekinnya kya ffuuti 2 ku 3 (Nankabirwa ky’ayita akaato) wakati w’ebitooke bina; ssaamu ebigimusa bya nnakavundira,
obusa oba obukuta bw’emmwaanyi oba kalimbwe avudde mu kiyumba ky’enkoko. Bikkako ettaka ttono.
Nankabirwa agamba nti enkola eno tereeta bitooke kusiguka, bisigala biggumivu mu kinnya era biwangaala.
“Singa buli mulimi assaamu amaanyi, ng’alima olusuku mu ngeri eyomulembe, tujja kusobola okulwanyisa enjala n’obwavu.
“Akatale k’ebirime weekali okutandikira ku kyalo kuba abantu bangi. Kale buli ky’olima ojja kwesalirawo ebbeeyio gy’otunda,” bwe yagambye.
Ensukusa kati zitundibwa wakati wa 1,000/- ne 1,500/-. Naye wadde kiri bwe kiti, kirungi okukendeeza ku nsukusa ezisigadde
ku kitooke olekeko bbiri zireme kulwanira biriisa.
Nankabirwa yawadde amagezi okubikka n’essubi eriwera, naye obutalissa kumpi n’ekitooke sikulwa kirwala.