
Engeri eyomulembe ey’okulunda embuzi.
KampalaBya Edward Sserinnya
OBULUNZI bukwatiridde ebyenfuna bya Uganda mu myaka 50 bukya twefuga. Era olw’obukulu bw’obulunzi okulongoosa ebyenfuna mu maka y’ensonga lwaki kati abantu bagukola ng’omulimu oguyingiza ensimbi.
Mu 1961, mu Uganda mwalimu ente 3,000,000; embuzi obukadde busatu kyokka we twatuukira mu 2005, ente zaali obukadde mukaaga, embuzi obukadde musanvu ate endiga zaali akakadde kamu n’ekitundu.
Lipoota mu Minisitule y’ebyobulimi n’obulunzi eraga nti mu Uganda kati mulimu ente obukadde 12, embuzi obukadde 13 ate endiga ziri obukadde busatu mu emitwalo 60.
ENNYAMA ERIMU SSENTE
Emmanuel Ssendegeya akolera mu lufula y’e Lweza - Kajjansi agamba nti, kkiro y’ennyama eri asubuula egula 6000/- ate ku mudaala eri ku 7000/- . Kkiro y’embuzi eri ku 9,000/-, mu lufula ate ku mudaala egula 10,000/-.
Ssendegeya agamba omuntu ng’alunze ente eya kkiro 150, asobola okugitunda 800.000/- nga tavudde mu maka ge. Olwo omusuubuzi n’agigobamu waakiri amagoba ga mitwalo 20. Ensangi zino omuntu alunda teyejjusa.

N’alina poloti eya ffuuti 50 ku 100 asobola okulunda.
KATI ABALUNZI BABAZA MAGOBA
Akola ku byobulunzi e Nakawuka, John Bosco Jjingo agamba nti, kati abalunzi basaanye okuva ku nnunda y’ebisolo ebingi badde kw’ebyo ebibawa amagoba. Omuntu alunda ente mukaaga enganda nga za mata musobola okuvaamu liita nga 40 olunaku, kyokka alunda Fresian emu olunaku naye akama liita 40, owa Fresian aba akusinga wala kuba ate ggwe alunda enganda omenyeka nnyo ye ky’atakola.
“Ente endala okuli Jersey, Guensey nazo tezikola bubi ku mata. Ente ekika kya Bolan ekola bulungi ku nnyama, singa ogirabirira bulungi n’ogirundira omwaka gumu n’ekitundu esobola okuzitowa wakati wa kkiro 200 ne 300 ne Abaden Angus nayo tekola bubi ku nnyama.
Eyeebuuzibwako ku byobulunzi e Kajjansi, Bered Bbuye agamba nti, kati embuzi ekika kya Boer kye kiri ku mulembe. “Ekika kino ng’okirundidde omwaka gumu oba gumu n’ekitundu, embuzi ezitowa wakati wa kkiro 40 ku 60. Wabula n’abalunda Galla nayo si mbi ku nnyama,” bw’agamba.
Mw. Bbuye agamba nti wadde Bannayuganda tebannaba kujjumbira kulunda ndiga wabula nazo zirimu ssente. Endiga enkulu zigula wakati wa 150,000/- ne 200,000/- okusinziira ku bunene bwayo.