
Abakadde nga bafuna ebintu
KampalaMINISITA w’abalema n’abakadde, Sulaiman Kyebakoze Madada agambye nti omuwendo gw’abantu abali waggulu w’emyaka 60 gweyondedde n’ategeeza nti omwaka gwa 2050 we gunaatuukira, abakadde bajja kuba basinga abavubuka obungi.
Byabadde mu kwogera kwe okwamusomeddwa omumyuka wa komisona mu minisitule eno, Beatrice Kaggya mu kutongoza ekibiina ky’obwannakyewa ekirabirira abakadde n’abantu abaliko bulemu ekimanyiddwa nga ‘River of life charity Organization’ ekyatandikiddwaawo Joyce Kajubi Sjolin omutuuze mu Sweden ku kitebe ky’eggombolola y’e Wakiso ku Lwokutaano.
Madada yagambye nti mu 1991 mu Uganda mwalimu abakadde 680,025, mu 2002 baali 1,100,039 ate mu 2007 ne bawera 1,500,000.Yategeezezza nti eno y’ensonga lwaki Gavumenti eno erina enteekateeka y’okulaba ng’abakadde bakiikirirwa ku buli mutendera okuva ku byalo okutuuka mu palamenti.