Kampala
LEERO lunaku lwa Valentayini era abaagalana buli omu abadde alwesunga nga mbaga. Wabula n’abalina abakyala abawera nabo lukyabeetakuza mitwe.
Sula Matovu ow’e Nalukolongo agamba nti eno y’egenda okuba Valentayini ye esooka okupepeya n’abakazi ababiri.
“Ebbanga lyonna mbadde n’omukazi omu era gwe mbadde mpepeya naye okuyita mu Valentayini eziyise nga tuli wamu. Naye gye buvuddeko nafunyeeyo omukyala omulala.
Kino kitegeeza nti Valentayini y’omulundi guno nnina okutetenkanya embeera n’okuba omugezigezi okulaba nga bannange bombi mbasanyusa n’omukwano gwaffe ne gisigala nga tegukoseddwa.
Ekizibu kyokka ekiriwo, Valentayini eno wetuukidde ng’abakyala bange bombi tebannamanyagana.
Wabula kye nnina okukola, kwe kubakuumira mu mbeera eno nga basanyufu basobole n’okunyumirwa obulungi olunaku luno.
Ekirungi ebirabo byabwe eby’olunaku namaze dda okubigula.
Sula Matovu
Yo enteekateeka yange ey’olunaku luno yawedde dda. Bombi ng’enda kubatwala mu kifo kye kimu era nja kubasaba bansangeyo busanzi olw’okwewala okugwang’anako. Wabula baakutuula mu bifo bya njawulo nga byesuddeko akabanga nsobole okutuukiriza kye nduubirira.
Nze ng’enda kubeera mu kuzannya muzannyo gwa ‘puulu’ ekiseera kyange ekisinga obunene. Kyokka ye weyita nja kumuwa ebiragiro okubakolako nga bwe baagala mu by’okulya n’okunywa. Nja kuba ng’endako buli omu w’atudde okumala eddakiika embale okumubuuzaako n’okubalaga nti ndi wamu nabo ku lunaku luno.
Ku ssaawa nga 6:00 ez’ekiro, nja kusooka kuwerekera omu ku bo, ng’ono ye mugole okumutuusa gy’asula. Ekirungi ono amanyi nti ng’enda kusula na mukyala mukulu era tajja kuba na kwemulugunya kwonna.
Eno gye nja okuva okusanga mukyala mukulu mu kifo we naaba namulese tudde awaka tukyekole. Kano ke kakodyo akajja okumpisa mu lunaku luno ne bannange bombi ate n’omukwano gwaffe gusigale nga guli gguluggulu,” bwatyo Matovu bw’agamba.