
Katumwa ne mukyala we.
KampalaMU Bukedde w’Olwokuna ku muko gwa Valentayini twafulumizza emigogo gy’abaagalana mukaaga ne tusaba abasomi baffe bakube akalulu ku b’ani abasinze okweraga amapenzi okuva ku Valentayini y’omwaka oguwedde okutuuka kw’eno.
Abaavuganyizza kuliko Katumwa ne mukyala we, Sam ne Sophie Gombya, Mike Mukula ne mukyala we, Silver Kyagulanyi ne mukyala we, Bebe Cool ne Zuena ne Shem Ssemambo ne mukayal we.
Bakatumwa be baasinze obululu bwe baafunye 13 ku bululu 24 obwakubiddwa.
Shem ne Capt. Mukula tebaafunyeyo abalonda naye kino tekitegeeza nti bbo tebeeraga mapenzi.