
Omukwano gw’edda tegwabanga gwa nsimbi ng’ogwennaku zino. Abazeeyi nga bano okufuna essanyu tekyavanga ku nsimbi.
KampalaNZE Ssaalongo Robson Ssonko, mbeera Ntebe. Omukwano gwaffe ogw’edda gwabanga gwannamaddala, era nga temuli buseegu.
Abaagalwa twabafunanga mu ngeri etegeerekeka era nga kizibu okugwa ku muyaaye ng’ennaku zino bwe kiri.
Embeera yaffe teyabangamu kutona birabo wadde okuwaanyisiganya ebimuli. Era ennaku nga luno olwabaagalana tetwalumanyaako, bizze nnaku zino.
Omusajja bwe yafunanga munne ne bwe baabanga bafumbiriganiddwa nga mpozzi amutwalako mu mizannyo .
Mu myaka gya 1960, 70, ne 80 waabangawo ebibiina bya katemba okugeza “Wankalubo, Ebonies, n’abayimbi omwali Jimmy Katumba ne Fred Ssebatta, Elly Wamala n’abalala abaasanyusanga abantu.
Tetwabanga na lunaku lwetongodde nti kwe mulina okweragira omukwano. We wayagaliranga ng’olina ne ssente nga mwesanyusa ne munno. Kino kyakuumanga nnyo omukwano gwaffe nga gunyuma okukamala.
Era kyabanga kizibu omukazi okukukyawa olw’obutamugulira kirabo nga bwe mpulira ab’ennaku zino.
Oluusi ow’ewange nga bwe simutwala mu mizannyo, tugendako ku bbiici ne tufuna akaseera akanyuvu. Mu kiseera ekyo, bbiici y’e Lutembe ye yaliwo era ng’erina siteegi ennene abadongo kwe baakubiranga omuziki ne munyumirwa.
Wabula twafubanga okulaba nga tetukeesezaayo era tetwanywanga mwenge gutusuula ku makubo. Twanywanga gwa kigero omuntu n’asigaza ekitiibwa kye.
Ekiseera ekyo nasulanga Makindye gye twapangisanga omuzigo ne kabiite wange.
Oluvannyuma eno gye twava ne tuzimba amaka e Ntebe. Wabula wadde guli gutyo, omukyala akyanjagala wadde sikyasobola kumutwala mizannyo olw’embeera eriwo.