KampalaOMUYIMBI wa Kadongo Kamu, Matthias Walukagga kirabika obutaba na bbaluwa ya buyigirize kimulemesa ddiiru za ssente ezimu n’okutuuka mu bifo ebimu.
W’osomera bino nga loodi ono azzeeyo ku ssomero attunke n’ebitabo.
Owoolugambo waffe atugambye nti atera kuyitira ku Martin Road ng’akutte ebitabo kyokka tetunnaba kutegeera ssomero w’asomera na kiki ky’asoma.
Abaamulabye batugambye nti kabasuubire nti naye taamale gasoma nga bwe yayimba mu luyimba lwe ‘Tomala gasoma’.
Wabula abamu bagamba nti ebitabo bino awandiikamu nnyimba ze. Oba ani mutuufu? Nze naawe!