
Nsubuga n’ebiwundu ku ttama.
KampalaKABWA kabbi kagumya mugongo. Olugero luno lutuukidde bulungi ku mwanamulenzi Shaban Nsubuga gwe baakutte ng’abba enkoko z’omutuuze ne bamukuba emiggo katono bamumize omukka omusu.
Nsubuga baamukwatidde Bweyogerere. Olwayingidde mu kiyumba enkoko ne zireekaana bannannyini zo ne bamutaayiza ne bamukwata ne bamuligita emigombante.
Poliisi y’e Bweyogerere ye yamutaasizza n’atwalibwa ku poliisi n’emuggulako omusango ku faayiro nnamba SD 04/31/01/2012.