Kampala
OBULIMBA bw’abasajja bwannemesa eddya eryasooka era kati ajja yenna nsooka kumuteeka ku minzaani ne mmupima.
Nze Rita Namutebi. Obufumbo bwange obwasooka nabumalamu emyaka esatu.
Emyaka ebiri egyasooka ebintu byantambulira bulungi era nga mu butuufu omukwano awaka weeguli.
Omusajja ono namweyabizanga era ng’amanyi buli kimu ekinkwatako.
Yantegeeza nga bwe yali tazaalangako ng’ayagala nze mba mmuzaalira omwana. Kino nnali mmaliridde okukikola wabula bwe nazuula nti yali alinayo abaana basatu omutima ne gufa.
Bino okubimanya lwali lumu nga ndi waka omukazi n’ajja n’abaana. Namwaniriza bulungi nga ndowooza nti osanga yalina oluganda ku baze kyokka olwamala okumulamusa kwe kukantema ng’omwami wange bwe yali yamusuula mu kyalo ng’amulekedde abaana abataliiko buyambi.
Nasooka ne ndowooza nti omukyala ono alabika alimba kyokka nagenda okutunula ku baana nga bamufaanana nnyo.
Kyampitirirako era omusajja saamulinda kukomawo ne mmuviira.