
Abamu ku baatikkiddwa.
KampalaABAYIZI abaayitira waggulu ebigezo bya PLE mu ssomero lya Cecilia and Paul Learning Centre e Namuwongo baweereddwa sikaala ne bbasale okuva eri Lawrence Mukiibi nnannyini masomero ne yunivasite ya St. Lawrence.
Abayizi bano nga babadde balabirirwa kibiina kya ‘Meeting Point Kyamusa Obwongo’ era nga ky’ekiddukanya essomero lino abasinga babadde tebalina bakadde baabwe ate ng’abalala tebeesobola mu by’ensimbi era nga be baasoose okutuula ebigezo bya PLE mu ssomero lino.
Bino Mukiibi yabyogeredde ku kitebe ky’ekibiina kino era okuli n’essomero lino e Namuwongo wiiki ewedde bwe yeetabye ku mukolo abayizi 181 mu ttendekero ly’ebyemikono mu kibiina kino ekya Meeting Point, kwe baaweereddwa amabaluwa oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo ku kutunga engatto, okutunga ebyalaani, okukola enviiri n’ebirala.