
Amasanga agaakwatiddwa.
KampalaEKITONGOLE ky’omusolo mu ggwanga ekya URA kikutte amasanga g’enjovu, amaliba g’Enswaswa n’amannyo g’e Njiri nga bikukusibwa okutwalibwa mu mawanga ag’ebweru.
Amasanga g’e Njovu 176 nga gazitowa kkiro 162, amannyo g’enjiri 189 nga gazitowa kkiro 38 n’amaliba g’e Nswaswa 19 nga gazitowa kkiro 3 n’amagumba g’ensolo ezitannategeerekeka nga gazitowa kkiro 3 bye byakwatiddwa.
Amasanga g’enjovu gaabadde gabalirirwamu akawumbi k’ensimbi za Uganda ng’agamu gaabadde gamaze okulongoosebwa. Amannyo g’e Njiri gaabadde gabalirirwamu obukadde 500 ate amaliba g’e Nswaswa obukadde 100.
James Kisaale omumyuka wa kamisona mu kitongole kya URA nga y’avunaanyibwa ku bikwekweto by’ababbirira omusolo yagambye nti ebintu bino byakwatiddwa mu bifo eby’enjawulo mu ggwanga.
Byakwasiddwa eb’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ku Lwokutaano.