
Kadeebo ng’awanise omukono okwewozaako.
KampalaBya Tom Gwebayanga ne Charles Okalebo
BAKANSALA ba Disitulikiti y’e Luuka bagobye munnaabwe ku kakiiko akafuzi nga bamulanga okubuza payipu za nayikonto 9.
Bino byabaddewo wiiki ewedde mu kizimbe ekiteesebwamu, bakansala bwe baagobye Fred Kadeebo akiikirira ggombolola y’e Bukanga era nga ye muwandiisi w’ebyemirimu n’ebyekikugu mu lukiiko olwakubiriziddwa Sipiika Baker Luwano.
Ekiteeso kyaleeteddwa Shaban Batwala (Irongo), eyasomye ekiwandiiko eky’emiko 4 ekyalaze nti Kadeebo yabuza payipu zino mu Waadi y’e Busonga mu Town Council y’e Luuka mu December.
Yalumirizza nti yeefuula “makanika” n’akuulamu payipu zino ng’alimba nti ajja kuleeta empya ezitatalagga. Abatuuze bwe baakaayana,yalagira ba Kanyama be ne bazittikka ku kabangali ya Sipiika n’agenda nazo.
‘Nsaba tumuggyemu obwesige kuba yeetyobodde n’okutuswaza,” Batwala bwe yagambye n’asembebwa Sam Ibanda Mugabi (bavubuka).
Mugabi yalumirizza nti Kadeebo payipu yazireeta mu sitoowa n’aziwanyisaamu empya nti azitwala Busonga gye zitaatuuka era nakati tezimanyiddwa mayitire.
Abaasembye okumugoba baabadde 13 ate abaagala asigale baabadde basatu ate 2 tebaabadde na ludda.
Ate kanssala, Florence Akalimwine (Bukanga) yagugumbudde ssentebe Samuel Kakyada olw’okulimba nti Kadeebo tazze mu lukiiko kuba muwadde.
RDC Fred Bangu yabasiimye n’agamba nti kijja kukendeeza ku buli bw’enguzi obufumbekedde Luuka ekiremesezza okufuna akakiiko akagaba emirimu nga buli asaba bamusaba ssente ekitaali kituufu.