breaking news
Ono ye kampala
Ab’oku Kaleerwe balonze ebifo Gavt. ebazimbireko akatale
  • Feb 15, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Abasuubuzi abakolera mu katale ka Kyosimbonaanya.

Kampala

Bya Ahmed Mukiibi                 

ABASUUBUZI b’oku Kalerwe bafunye ekifo we baagala gavumenti okubazimbira akatale ak’enkalakkalira bave ku mabbali g’ekkubo kwe babemberera ate nga tebalinaako bwannannyini.

Ekifo, abasuubuzi bakifunye mu Kibe Zooni ne Sebina Zooni  mu muluka gwa Makerere III. Kiri ku ttaka lya gavumenti lya yiika kkumi era bawandiikidde Pulezidenti Museveni nga bamusaba okubasisinkana abafunire ekyapa n’okubakolera ku  by’okuzimba akatale  ak’omu mulembe.

Mu kiwandiiko kyabwe eri Pulezidenti Museveni, abasuubuzi bano  abasoba mu 28,000 abeegattira mu kibiina; Kaleerwe Market Traders & Farmers  Association baategeezezza nti bakolera mu mbeera mbi era tebakyayinza kugigumiikiriza.

Baagambye nti  ensonga yaabwe yeetaaga okukolwako mu bwangu kubanga bannannyini bupoloti we bakolera  ku mabbali g’oluguudo ku Kaleerwe ekiseera kyonna batandise okubagoba nga baagala kuzikulaakulanya.

Ssentebe w’abasuubuzi bano, Salim Ddamulira agamba nti ekiyitibwa akatale k’oku Kaleerwe si katale ak’enkalakkalira ng’obutale obulala wabula bifo eby’obwannannyini ebiri ku mabbali g’oluguudo mu kitundu kino, abasuubuzi n’abalimi mwe batundira.


Bano abasuubuzi, amatooke bagatundira ku bugulumu.

Ebifo bino, Ddamulira agamba nti biri 30 okuli; ekya Mpuuga, Tatu, Mugumya, Muwonge, Kijambu, Muluya, Musisi, Senoga, Sezi Musoke, Walakira, Kizito, Bivamuntuuyo, Yusuf, Kamadi Matovu, Kajubi, Konge Muwanguzi, Nkonge, Mukiga, Mugalu, Mambule, Ssebanenya, Sajjabbi, Kate, Kibe, Lufula, Bypass ne Farmers Market.


Omusuubuzi ng’ali ku mudaala gwe atunda obummonde.

Embeera eno gye bakoleramu, Ddamulira agamba nti y’evuddeko ekitundu kyabwe okufumbekeramu abamenyi b’amateeka, ’okuleetawo omugotteko gw’ebidduka ku Kaleerwe n’emivuyo emirala.

  • Feb 15, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola