breaking news
Ono ye kampala
‘Pulezidenti atuyambe tuliyirire abantu’
  • Feb 15, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Mustafa Nsimbe ng’atunda ebintu mu katale ka Nkonge.

Kampala

Bya Ahmed Mukiibi

SALIM Ddamulira agamba nti enteekateeka okuzimba akatale kaabwe, baagitandika  mu 2006, Pulezidenti Museveni lwe yabasuubiza ng’ali mu kampeyini  ne banoonya ekifo ekigazi we basobola okuzimba akatale era baakifunye.

Pulezidenti Museveni bwe yali mu kampeyini eza 2006 ne 2011 yasuubiza ab’oku Kaleerwe nti gavumenti ejja kubayambako mu kuzimba akatale ak’omulembe kubanga embeera gye bakoleramu mbi.

Ddamulira yagambye nti Pulezidenti bwe yamala okubasuubiza baawandiikira eyali omuwandiisi we ow’ekyama ebiseera ebyo Muky. Amelia Kyambadde eyabakwasa aba Minisitule eya gavumenti Ezeebitundu okukola ku nsonga zaabwe kyokka tewaliiwo kya maanyi kyali kituukiddwaako okuva olwo.

Minisita wa gavumenti Ezeebitundu, Adolf Mwesigye  bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yagambye nti gavumenti erina enteekateeka ey’okukulaakulanya n’okusitula omutindo gw’obutale mu Kampala, era  asuubira nti ab’oku Kaleerwe nabo bajja kuganyulwa mu ntegeka eno.

Ddamulira yategeezezza nti baagala okusisinkana Pulezidenti bamujjukize ku kisuubizo kye yakola  eky’okubazimbira  akatale akali ku mutindo okufaananako ng’obutale obulala mu Kampala.

Ekifo kye baafunye, Ddamulira yagambye nti kirimu abasenze abasoba mu 200 abeetaaga okusooka okuliyirirwa era n’agamba nti bwe banaaba basisinkanye Pulezidenti Museveni bagenda kumusaba abakolere ku by’okusasula abantu abo.

Ddamulira era yagasseeko nti baagala n’okusaba Pulezidenti Museveni abafunire  ekyapa ky’ekifo kino, kubanga ettaka lye baafunye lya gavumenti. “Pulezidenti bw’aba alagidde, akakiiko ak’ebyettaka mu ggwanga aka Uganda Land Commission kasobola otukukolera ku kyapa,” bwe yagasseeko.

Yagambye nti gavumenti ejja kuganyulwa kinene singa abasuubuzi b’oku Kaleerwe bafuna akatale  ak’omulembe kubanga kijja kuleetawo obutebenkevu mu kitundu kino ekimanyiddwa ennyo ng’ekifumbekeddemu abamenyi b’amateeka.

  • Feb 15, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola