
Nsubuga
KampalaBya Moses Lemisa
ABED Nsubuga atunda cakalacakala mu katale ka Kizito agamba bwati:
Tetulina kifo kituufu we tukolera kuba kati bannannyini bifo batandise okubiguza abagagga. Kyokka bukya Pulezidenti Museveni atusuubiza kutuzimbira katale tewali kyali kikoleddwa.
Ekisinga okunneewuunyisa be b’ekitongole kya KCCA abatusoloozaamu ssente kyokka nga beemulugunya nti tutundira mu luguudo. Oba tukolera mu bifo ebikyamu ate olwo ssente zaffe bazaagaza ki?
Ate n’ekirala obulamu bwaffe buli mu matigga kubanga tukolera ku kkubo era ssaawa yonna mmotoka eyinza okujja n’etuyoola.
Tusaba Pulezidenti Museveni atuyambe atuzimbire akatale nga bwe yatusuubiza mu 2006.