breaking news
Amawulire
poliisi ekutte 4 mu gw'obubbi
  • Feb 16, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

Bya Henry Sssennyondo

ABASAJJA bana bakwatiddwa poliisi y'e Katwe n'ebaggalira nga kigambibwa nti babbye eby'amaguzi by'abasuubuzi ebyaleeteddwa mu konteyina okuva e China.

Abaakwatiddwa olw'okubba ebintu by'abasuubuzi kuliko: Ivan Bukenya, Amiss Bambika, Jackson Muwaayire ne Joseph Lule ng'abamu bakozi mu kifo we booleza emmotoka ekiyitibwa Jeremy Kar Wash okumpi n'essaawa ya Kkwiini mu Kampala.

Ekifo kino batikkulirawo eby'amaguzi bingi ebiva ebweru w'eggwanga.

Ebintu ebyabadde bibbiddwa okuva mu konteyina, mwabaddemu ebya Muky. Constance Nassali, Annet Kayongo ne Sylvia Namanda.

OC atwala poliisi y'e Katwe (ASP) Richard Kuteesa yategeezezza nti abasuubuzi bano beegatta ne bawa munnaabwe omu abasuubulire eby'amaguzi ne babipakira mu konteyina emu kyokka ne wabaawo obusente obugitambuza obwali busigaliddeyo ekyavaako okugikwata.

  • Feb 16, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola