
SSENTEBE w'amasomero g'obwannannyini mu Makindye, Nnalongo Nambogga Kawenja alagidde abakulu b'am
KampalaBya Henry Ssennyondo
ABAKULIRA ebyenjigiriza mu Makindye balabudde abakulu b'amasomero abaatandise olusoma luno nga tebalina bisanyizo omuli zi kaabuyonjo ezijjudde n'abaazimba okumpi n'emifulejje omuyinza okugwa abaana.
Akulira ebyenjigiriza omuggya Mw. Jeremy Magimbi yategeezezza nti baagala okusitula omutindo gw'ebyenjigiriza nga batandikira ku bisanyizo amasomero bye gateekeddwa okuba nago.Nagattako nti bagenda kutandika ebikwekweto by'okufuuza amasomero agatalina bisanyizo n'ago agaali gaalabulwa ne gatassa mu nkola.
"Tulina amasomero agali mu mbeera embi, agamu galina kaabuyonjo ngha zajjula dda kyokka ebiseera by'oluwummula babimazeeko tebaziddaabiriza. Amala gaazimbibwa ku myala essaawa yonna enkuba bw'etonya abayizi bayinza okugigwamu"Magimbi eyabadde asisinkanye abasomesa mu masomero g'obwannannyini ku Green Hill Academy bwe yategeezezza.
Nagattako nti eby'obulamu n'obuyonjo mu masomero biteekeddwa okubanga biri waggulu, eby'okwerinda by'abayizi okwongerwamu amaanyi ate n'abakulu b'amasomero okukuuma ebiwandiiko by'ago.
Magimbi eyavudde e Nakawa, yaddidde Ssaalongo George Muteekanga mu kifo ky'ebyenjigiri e Makindye.
Ssentebe w'amasomero g'obwannannyini, Nnalongo Nambogga Kawenja yategeezezza nti baagala okwongera emisomo mu basomesa n'abakulira amasomero gano, okulambula amasomero okumanya bwe bagaddukanya n'asaba n'abagakulira okuwanga abasomesa baabwe amabaluwa agabakakasa ku mirimu sso si kubakozesa bukozesa nga tebalina biwandiiko okwewala okubbibwa.