breaking news
Amawulire
Nkubakyeyo afiiridde mu muzigo
  • Feb 16, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
Kampala

Bya Henry Ssennyondo

ABATUUZE mu Bukejje Zooni e Luwafu baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe abadde yaakava e Bungereza ng'afiiridde mu muzigo.

Ofiisa wa poliisi Sgt. Isaac Namwanza yategeezezza nti Charles Ssempeebwa ye yasangiddwa afiiridde mu muzigo gw'abadde yaakapangisa.

Omulambo gwe okuzuulibwa, kiddiridde abatuuze okuwulira ekiwunya ng'ate babadde baakoma okumulabako lwe yakomawo Olwokutaano.

Sgt. Namwanza yagambye nti wa mabbali w'omulambo wasangiddwako entuumu y'amakerenda mangi nga ga bika byanjawulo nga waliwo n'ebiwandiiko ebiraga nga bw'abadde ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya St. Francis Rapahael e Nsambya.

Omulambo gwe gw'aggyiddwayo mu nju ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago kyokka nga tewanabaawo wa luganda lwe yenna akimayo mulambo mu ggwanika e Mulago gye gwatwaliddwa okwekebejjebwa.

  • Feb 16, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola