
Kizito mu kutendekebwa kwa Cranes e Namboole gye buvuddeko.
Bya Hasfah Ssonko
February 29 mu za Afrika:
Congo BrazaVille - Uganda:
OLUVANNYUMA lw’omuzibizi Nestroy Kizito okulangirira mu butongole nga bw’annyuse okuzannyira ttiimu y’eggwanga, omutendesi wa Cranes, Bobby Williamson agambye nti mugumu nti abazibizi abasigaddewo baakuziba eddibu lye ttiimu ereme kumusubwa ku kampeyini y’okuzannya mu kikopo kya Afrika eza 2013.
Cranes ekyalira Congo Brazaville ku nkomerero y’omwezi guno mu gw’okusunsulamu abalizannya mu za Afrika e South Afrika nga ne kapiteeni Ibrahim Sekaggya yategeezezza Bobby nga bw’atajja kuzannya mupiira guno olw’obuvune obukyamutawaanya.
“Kizito abadde muzannyi mpagiruwaga mu ttiimu yaffe naye nkakasa nti tulina abazannyi abalala abalungi abasobola okuzannya ennamba ye ne batwala ttiimu mu maaso,”Bobby bwe yategeezezza.
Kizito yawandiikidde FUFA ng’agitegeeza nga bw’atagenda kuddamu kuzannyira Cranes ne yeebaza obwesige bwe bamutaddemu ebbanga lya myaka 11 gy’agizannyidde n’agamba nti k’awe ku bazannyi abalala omukisa batwale ttiimu mu maaso.
Omwogezi wa FUFA, Rogers Mulindwa yategeezezza olukiiko lwa bannamawulire ku kitebe kya FUFA e Mengo eggulo nti, “Kizito yatuwandiikidde ng’atutegeeza bw’annyuse okuzannyira Cranes era nga FUFA ne tumwebaza okufiirira eggwanga lye okumala ebbanga eryo lyonna.”
Ey’abato eyitiddwa e Rwanda:
Ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 20, yaakuttunka n’eya Rwanda (Junior Wasps) mu gw’omukwano nga February 26.
Amyuka omutendesi wa ttiimu eno Abdallah Mubiru, yakakasizza omupiira guno n’agamba nti bagenda kutuula mu bbanga eritali lya wala balonde ttiimu olwo okutendekebwa kutandike ku Mmande nga Februay 20.