
Meddie Ssentongo
KampalaBya Prossy Nanziri
MEDDIE Ssentongo, eyeeyita omugagga omuto, asindikiddwa mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okwekobaana ne muganzi we, Bad Black, okunyaga ku Muzungu David Greenhalgh ssente za doola obukadde mwenda, eza wano bwe buwumbi (20, 700,000,000/-).
Meddie atuuse ku ssaawa nnya ez’okumakya, asoose kutwalibwa mu maaso g’omulamuzi Sarah Langa owa kkooti ento ewozesa abali b’enguzi n’abakenuzi, era eno omuwaabi wa gavumenti, Robert Mackay gy'ategeerezza ng’okubuuliriza bwe kuwedde, bwatyo n'asindikibwa mu kitongole kya kkooti enkulu.
Ku ssaawa 5:30 ez’okumakya, atwaliddwa mu kkooti enkulu, gy'asanze Black. Tebeebuuzizza wadde okwetunulako, wadde nga babadde batudde ku ntebe y'emu.
Emisango gibasomeddwa mu Luzungu kyokka oluvannyuma Ssentongo ategeezezza omulamuzi nti wadde Oluzungu alumanyi, asinga kutegeera Luganda n'asaba nti omusango bwe gunaatandika okuwulirwa, bamufunireyo omutaputa.

OMUWALA Black Namuyimbwa ku (ddyo) nga bimusobedde olwa Meddie Ssentongo okusindikibwa e Luzira. Ali ku (kkono) omu ku baabadde ne Black yayunguse amaziga ku kkooti ewozesa ababulankanya ssente e Kololo Olwokuna. Ekif: Henry Ssennyondo.
Oluvannyuma lw’okubasomera emisango, Black agenze okulaba ku Ssentongo mu kaddukulu, era n'ategeeza abamawulire nti tagenda kukaaba wadde nga kye babadde baamusuubira okukola.
Omuzungu abadde azze okulumiriza abantu bano, kyokka tekisobose oluvannyuma lwa bannamateeka ba Ssentongo abakuliddwa Isaac Walukagga, okutegeeza nga bwe beetagaayo akadde okwetegereza sitatimenti n’ebiwandiiko ebirala ebibadde bibaweereddwa.