breaking news
Amawulire
Munnyambe olumbe lundi bubi - Ying. Kazibwe
  • Feb 16, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Ying. Charles Kazibwe ng''ali ku kitanda mu ddwaliro e Nsambya. Ekif: Eriya Luyimbaazi

Kampala

Bya Eria Luyimbazi

YING. Charles Kazibwe eyali bba wa Specioza Wandera asinzidde ku kitanda mu ddwaaliro e Nsambya gy'ajjanjabirwa n'asaba mukwano gye okumuyambako mu kusasulira ssente z'obujjanjabi ezimubanjibwa.

Bino Ying. Kazibwe yabitegezezza Bukedde bwe yamutuukiridde mu waadi ya Gozanga mu ddwaaliro e Nsambya gy'ajjanjabirwa n'ategeeza nti mu kiseera kino ayagala kufuna ssente okusobola okusasula ensimbi obukadde 2 ezimubanjibwa ng'ebisale by'eddwaaliro.

"Nsaba mikwano gyange n'abantu mwenna abammanyi okunnyamba nsobole okusasula ssente z'eddwaliro kuba nnaakamala wiiki bbiri ku kitanda wabula nsobeddwa kuba ssente zigenze nnyingi ate nga sizirina, nsaba kunkwatirako" Ying. Kazibwe bwe yalaajanye.

Yagambye nti okutwalibwa mu ddwaaliro yasooka kunafuwa mu mubiri emyezi ebiri egiyise n'agwa mu kinaabiro ng'anaaba mu makaage e Gayaza era wano we yafunira omusujja ogw'amaanyi ogwamuviirako okuweebwa ekitanda mu ddwaaliroe.

Ye muganda we Emmanuel Kiyaga Masagazi yagambye nti guno mulundi gwa kubiri nga Ying. Kazibwe azzibwa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi n'asaba abazirakisa okubayambako mu by'ensimbi.

  • Feb 16, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola