KampalaBya LWANGA KAMERE
AKAKIIKO akaddukanya empaka z'amasaza ga Buganda kongedde amateeka amakakali mu mpaka z'omwaka guno. Mu lukiiko olwatudde e Bulange e Mmengo nga lukubirizibwa Ssentebe walyo Mukwenda Godfrey Mbalire basazeewo omuzannyi yena asambidde ttiimu z'eggwanga zonna tajja kukirizibwa kwetaba mu mpaka zino.
Ttiimu kuliko eya abali wansi w'emyaka 17 (Hippos), 23 ( Kobs) ne 'The Cranes' tajja kukirizibwa mu mpaka zino. Emabegako babadde bagana wa Super yeka.
Olukiiko luno lwasazeewo Essaaza ly'e Ssingo Ssentebe w'empaka gyajja bebajja okugulawo empaka z'omwaka guno nga 5/ May kukisaawe ky'e Ssaaza e Mityana.
Mukwenda yagambye nti betaga obukadde bw'ensimbi 402 obugenda okusasanyizibwa mu mpaka zino. Batabani ba Kimbugwe aba Buruuli bebalina ekikopo kino.