Kampala
NZE Jackline Kakyo, mbeera Nansana kyokka nzaalibwa Fortpotral.
Ewaffe navaayo mu October w'omwaka oguwedde nga n'ensonga eyandeeta yali ya kunoonya kya kukola nsobole okweyimirizaawo.
Ng'omuwala akuze okuva lwe najja mbadde nneetegereza abamu ku basajja ababadde bantuukirira ku nsonga z'omukwano.
Mu bangi abantuukiridde ku nsonga eno,Ismael gwe mbadde nonzeemu kuba abadde asinze ku banne ensumika kuba ayogera bulungi, anfaako ate ng'alina ne byankoledde bingi ebinkakasa nti anjagala.
Ennaku zino abadde atandise onkunsendasenda okuntwala ewuwe ntandike okumufumbira wabula namusabye tusooke tukeberebwe omusaayi.
Kino kirabika kimuremye okutuukiriza kuba buli lwe nkimugamba yeefuula atalina budde. Mwesibyeko enfunda eziwera naye alabika si by'aliko kyokka nze ntya nnyo obulwadde bw'ekikaba.
Eno y'ensonga empalirizza okumujjako ebirowoozo byange era kati ntandise okunoonya omusajja omulala era omwetegefu okwekebeza omusaayi n'okuyita mu mitendera gyonan egy'obufumbo.
Eno y'essimu yange 0788432703.