breaking news
Amawulire
Kitange mmutegedde mu 2010 -Maureen Nantume
  • Feb 18, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Maureen Nantume ng''''ayimba

Kampala
Bya HASIFAH NAAVA
 
MU mazima nze ani Mukama, gw’oyambye n’osaasira! Ebyo by’ebigambo Maureen Nantume by’akozesa bw’aba atandika okukunyumiza obulamu bwe bw’agamba nti bubaddemu ebiwonvu n’ebisirikko. Nantume agamba nti akuze tamanyi kitaawe, yamumanya myaka ebiri egiyise mu 2010.   
 
 Ebiwonvu n’ebisirikko ebyamulemesa okumanya kitaawe ebbanga eryo lyonna abinyumya bwati:
Ndi mukyala eyeddira Embogo era nze Maureen Nantume, mmange ye mugenzi Reginah Nakitende kyokka nakula ne jjajjange Mauriciya Nantongo e Kyanukuzi Kiwangala e Masaka.
 
Nasomera Kyanukuzi P/S gye nava ne ng’enda e Katale Nalumunye ku Busaawuula P/S era gye natuulira ekyomusanvu ebiseera ebyo nali mbeera ne jjajjange Katende wabula navaayo nga mmaze ekyomusanvu oluvannyuma lwa muka jjajjange okungoba awaka nti ng’ende n’abanzaala bandabirireko.
  
Nsuulibwa mu nju
 
Mu bulumi obw’ekitalo, nanoonya jjajjange omukazi azaala mmange Mauriciya gye yali yasengukira e Nateete era kwe kusomera ku Agro Links e Namasuba.
 
Jjajja bwe yafa mu 2001, kwe kusenguka nga ndi ne kojja  gwe twabeeranga naye ewa  jjajja, ne tudda e Zana.
 Kojja  yalina abaana nga nze mbalabirira okutwaliza awamu nga nninga mukozi wabula kino saakitwala ng’ekikulu. 
 
 Jjajja bw’afa, waliwo omusumba eyeeyama okusigala ng’ampeerera nsome. Lumu kojja yambuuza nti, “Bwe nkuleka mu nju muno wekka osobola okubeeramu wekka?” Naddamu nga ndi musanyufu nga ndowooza nti yali ang’amba nti bw’andekamu n’abaana be nsobola okubakuuma wabula ekyanziggya enviiri ku mutwe kwe kuva ku ssomero okudda awaka ne nsanga ng’ennyumba nkalu.
 
Kojja yali akuttemu abaana be n’ebintu byabwe ne bagenda olwo nga mulimu 5,000/- ze yandekeramu okweyambisa n’obugoye bwange bwe nasikira ku mmange eyali yafa mu 1996. 
 
Nasoberwa ne mbirowoozaamu, wano muliraanwa eyali alabye kojja ng’agenda n’annyamba n’ansuza era okusoma kwange awo we kwakoma mu S.3.    
 
Nkola obwayaaya
 
Omukyala ono yanfunira obwahawusigaalo e Najjanankumbi ew’omukyala gwe bayita mulongo ng’ono yasooka kunsasula 10,000/- kyokka bwe waayita akabanga n’annyongeza ng’ampa 15,000/-. 
 
Bwe nabeeranga nkola emirimu gyange nga mba nnyimba era omukyala ono yanjagaliza nnyo okubeera omuyimbi ng’agamba nti sisaanidde kubeera mukozi w’awaka.
 
Lumu mukama wange yali agenze mu kivvulu mu Lubiri e Mengo n’awulira nga Geofrey Lutaaya agamba nti ayagala abawala abaagala okuyimba n’okuzina nti abasobola bagende ku AY e Makindye babagezese. Mukama wange olwadda n’ang’amba ng’endeyo.
 
Maureen Nantume ng'ayimba n'omukadde omu mu kivvulu.
 
 
  Nneegatta ku Eagles
 
Enkoko nagikwata mumwa ne njolekera AY e Makindye. Twali bangi nga buli omu bamugezesa ku luyimba lw’amanyi. Nze nayimba Big Daddy olwa Betty Mpologoma. Bwe nayimba Mayinja n’agamba nti omuwala oyo addemu ayimbe ne banziza ku ludda olulala.
 
Baatusuubiza nti abanaaba bayiseemu bajja kumulanga ku CBS era baatuyita abawala bataano naye ku bataano nze nzekka eyagenda. Bang’amba nti ndi waddembe okutandika okugenda mu bivvulu byabwe kwe kutandika  mu 2003 kyokka nga bwe nkola obwahawusigaalo.
 
Ssente mukama wange ze yansasulanga nga nzimuteresa bwe zaawera kwe kumutegeeza nga bwe ng’enda okupangisa. Enju nagifuna Ndejje nga ya mutwalo era nasasulira emyezi ena. Emyezi gino bwe gyaggwaako nga sirina wadde ekuba ennyonyi kwe kugenda ewa mukwano gwange Resty eyali abeera ku lw’e Salaama.
 
 Wadde okuva mu 2003 nali mu Eagles naye ku siteegi nalinnyako mu 2006 era mu mwaka guno mwe nayimbira oluyimba lwange  Oyitiriza Okunvuma ne Siri ndogoyi. Zino okuziyimba twali tugenze mu kyalo abayimbi ne balwawo okutuuka Lutaaya kwe kung’amba nnyimbe Siri ndogoyi.
 
Mu 2007 nafulumya oluyimba Abakozi ba Safaari, Sweet Mutima, Mpa Time, Onsaanira. Era mu nnyimba zino Safaali yantunda nnyo era ye yanzibululula kwe kutandika n’okuyimba ku mikolo.
Mu 2008 naleeta Weebale kunfubutula, Kirooto, Bw’oba onjagala olwo nga buli wiikendi nnyimba ku mikolo ssente ne zeeyongera.
 
Mwami Dennis Ssekiziivu kitaawe wa Nantume
 
 
Mmanya kitange
 
Mu 2009-2010, nava ewa mukwano gwange ne ntadika okupangisa wano wendi nga wenja okuva okugenda mu nju yange gye nzimba e Kitende. 
 
 Era mu 2010 mwe nategeerera kitange kuba nali simumanyi. Ebimukwatako, nnyamba siyinza kubikoonako. Abantu be nsinga okwagala ye muwala wange Whitney Nakalema gwe mbeera naye ne jjajjange Mauriciya Nantongo eyankuza era nga mmulaba nga Katonda ow’oku nsi. 
 
Jjajja yang’ambanga nti ojja kukula ogaggawale ovuge mmotoka obe n’enju eyiyo ekyennaku nti bye yanjagaliza yafa tabirabyeko. Bino bwe nabinyumiza Grace Morgan kwe kumpandiikira oluyimba Nze ani olukwata ku bulamu bwange. 
  • Feb 18, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola