
Kapiteeni Manco Kaweesa ayolesezza omutindo
KampalaURA 3-0 Lesotho Correctional Service
OLUTALO lw’okweggyako ekikwa ky’okuviirangako ku luzannya olusooka mu mpaka za CAF Chamipions League, URA erukutte na maanyi bw'etimpudde Lesotho Correctional Services ggoolo 3-0 mu luzannya olusoose mu kisaawe e Namboole.
Enfunda essatu eziyise URA ebadde ewandukira ku luzannya lusooka kyokka omutendesi Alex Isabirye ku luno teyakomye ku bigambo bwe yaweze wabula yayungudde ttiimu kabiriiti eyalaze nti olugendo lwayo lutangaavu.
Kapiteeni Manco Kaweesa ye yasoose okuteeba okwazze eya Sula Baagala ne Austine Nsumba ekyawadde Isabirye amaanyi n’agamba nti, “ttiimu yange ebadde esobola okuwangula ne ggoolo ezisingako kyokka emikisa mingi gitufudde. Nga tudding’anye, tujja kubakaabya akayirigombe kuba tutegedde enzannya yaabwe.” Mokhothu Moshuli atendeka Lesotho Correctional yagambye nti, “Tewali kitasoboka era mmanyi nti tujja kusuna ggoolo ze twetaaga tuyitumu nga tudding’anye.”
Badding’ana mu wiiki bbiri mu kibuga Maseru e Lesotho.