breaking news
Ffirimbi
Abaddukanya ensambaggere bayitirizza omululu gw'ensimbi
  • Feb 19, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |

Bya Augustine Tamale

OKULULUNKANA kujjudde abakungu n'abazanyi b'ensambaggere. Buli omu assaawo ekibiina ate akikozesa okusukka we kirina okukoma.

Abazannyi bazannya mu mpaka z'abayiga ne pulofeesono nga bwe baagala. Ekibiina ky'ensambaggere (Uganda Kick-Boxing Federation) kya bazannyi 'bayiga' ate okisanga kyenyigira mu nnwaana ng'eza Golola ali mu bapulofeesono.

Golola yennyini talina layisinsi ya pulofeesono era ne kontulakiti akola za majenjeeke ky'ava akaayanira ssente n'abategesi.

Abaggya abawagizi ekifu ku maaso ku lulwana lwa Golola, baabayisa ku litalaba (tebaasasulwa wadde ennusu)!

Kati waliwo abaatudde ne balonda olukiiko lwa pulofeesono olwo ne gujabagira. Anti kati okutegeka ennwaana za bapulofeesono kufuuse kwa kirwanire.

Minisitule, NCS, UOC, abazannyi wamu n'abaddukanya ensambaggere beetaaga okutuula mu bwangu kuba obukuluppya n'emivuyo bigenda kubuutikira omuzannyo guno mu Uganda.

atamale@newvision.co.ug 0772419501

 

 

  • Feb 19, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola