KampalaHAJJI Haruna Kitooke okuva lwe yagattibwa ne mukyala we takyayagala kulya mu kyalo ng’amba mu tonninnyira.
Waliwo we yabadde banywanyi be ne bamusaba bagende balye ekyemisana.
Yabazzeemu nti nze sirya mu kyalo ng’enda waka e Buziga omukyala gyali afumba.
Yalinnye mmotoka n’abamu ku banywanyi be ne bagenda.
Olwo abaasigadde kwe kugamba nti oyo kirabika ayagala kwonoona ku ssente kubanga amafuta g’ovuga okugenda e Buziga n’okudda gagula emmere y’abantu nga bana.