
Bwanika (wakati) n’abakulembeze babannannyini bulwaliro obutono nga basala keeki mu kutongoza ekibiina.
KampalaABASAWO abaddukanya obulwaliro bw’obwannannyini mu Disitulikiti y’e Wakiso beekozeemu ekibiina ekibagatta kye batuumye Wakiso Drugshop Owners and Operators association (WADOPA).
Ekibiina kino ekyatandise ne bammemba 500 kyatongozeddwa ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika ku mukolo ogwabadde ku Nsambya Sharing Hall.
Bwanika yasabye abasawo n’abajjanjabi bano okutandika kaweefube w’okulwanirira eddembe lyabwe ery’obuntu n’okuyamba ku Disitulikiti okulwanyisa obulwaliro obwekimpatiira n’abasawo ab’ebicupuli abeerimbika mu mulimu gwabwe.