
Muyenje ne Kasirye nga babatwala ku poliisi.
KampalaABAVUBUKA abagambibwa okubeera ababbi n’okukuba abantu obutayimbwa poliisi ebawonyeza okwokebwa abatuuze b’e Lubaga.
Abavubuka bano okuli Simon Kasirye ne Jackson Muyenje baakwatiddwa ku Lwokuna ku makya oluvannyuma lw’essimu bbiri okubula ku kifo awoolezebwa emmotoka e Lubaga mu maaso ga ofiisi ya munisipaali y’e Lubaga.
Abayoza mmotoka mu kifo kino be baabakutte ne babakuba emiggo olwo abalala ne baleeta ebipiira mwe baabatuuzizza nga baagala okubookya.
Wabula baabadde bategeka okubakumako omuliro kabangali ya poliisi okuva e Kampalamukadde n’etuuka ne batwalibwa ku poliisi.