breaking news
Amawulire
Ndi kafulu mu by'obukulembeze – Museveni
  • Feb 20, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
clip
Pulezidenti Museveni

Kampala

Bya Musasi Wa Bukedde

PULEZIDENTI Yoweri Museveni ategeezezza ng’okulwa mu bwapulezidenti bwe kimuyambye ennyo okusajjakula n’okufuuka kafulu mu by'obukulembeze.

Okwogera bino, Museveni yabadde Kisumu mu Kenya ku bugenyi obutongole gye yatongolezza ensawo eneeyamba ku bayizi abali mu matendekero aga waggulu mu mawanga ga Great Lakes emanyiddwa nga Great Lakes Universities’ Education Trust Fund. Omukolo guno gwetabiddwaako Ssaabaminisita wa Kenya, Raila Odinga ku Lwomukaaga.

Museveni yaakamala ku bwapulezidenti emyaka 26 okuva mu 1986 lwe yawamba oluvannyuma lw’olutalo olwakulungula emyaka etaano.

Museveni yagambye nti, “Abamu balowooza nti kibi okulwa mu bukulembeze, naye gy’okoma okulwamu, gy’okoma n’okuyiga. Nze kati ndi kafulu mu byobukulembeze.”

Museveni yawaddeyo doola z’Amerika 100,000 (eza Uganda obukadde 231) mu nsawo eyatongozeddwa n’agamba nti ebizibu bya Afrika ebisinga bivudde ku buteenyigira mu kunoonyereza kulungi ssaako n’amagezi amakyamu okuva ebweru.

Yasabye amatendekero ga yunivaasite okwewala amasomo agatali ku mulembe kuba ge gaviiriddeko abayizi abangi abafuluma ne babulwa emirimu.

  • Feb 20, 2012
  • |
  • |
  • |
  • |
  • |
  • Big font Small font
  • |
blog comments powered by Disqus
Facebook
Twiteer
Ebisomeddwa ennyo
Ebyogeddwaako ennyo
Ebiweerezeddwa ennyo
OMUSAWO omukugu ku nsonga z’ekikyala mu ddwaaliro e Mulago, Dr. Henry Kakande agambye nti si kyangu omuntu omuddugavu nga yeegasse n’omuzungu okuzaala omwana nga muddugavu kagongolo.
Okusalawo ku kitaawe w''omwana wa Black kusinziira ku langi ya mwana?
Ye
Nedda
Simanyi
Temulemesa bannamwe kukola